TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Aba Twaweza bafulumizza alipoota ku bantu abafunye obuyambi bwa Gavumenti mu COVID

Aba Twaweza bafulumizza alipoota ku bantu abafunye obuyambi bwa Gavumenti mu COVID

Added 10th July 2020

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo mu kiseera kino ekya Corona n’omuggalo okusinga bwekyali mu biseera ebiyise. Olw’embeera ya Corona, amaka mangi kati geesanga nga sente zebayingiza tezisobola okukola kumala ku by’etaago bye byabwe.

OKUNOONYEREZA kuzudde nti ab'enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo mu kiseera kino ekya Corona n'omuggalo okusinga bwekyali mu biseera ebiyise.

Olw'embeera ya Corona, amaka mangi kati geesanga nga sente zebayingiza tezisobola okukola kumala ku by'etaago bye byabwe.

Okunoonyereza kuno kwakoleddwa aba Food Rights Alliance nga bali wamu ne Twaweza Uganda nga baakutuumye obulamu mu kiseera kya COVID-19 tebwenkanankana.

Olwobwetaavu obweyongedde okunoonyereza kulaga nti Bannayuganda banoonya omuntu abasuula omukono bafune ku buyambi obw'enjawulo kyokka omuntu 1 ku 10 yaasobodde okubeerako n'akantu kaafuna okuva mu gavumenti, ekibiina ky'obwannakyewa oba ekkubo eddala lyonna.

Marie Nanyanzi eyakulidde okunoonyereza mu Twaweza bwe yabadde ayanjula lipooti yagambye nti okunoonyereza kuno kulaga embeera y'ebyenfuna eriwo mu ggwanga ereeteddwa omuggalo eyongedde okutunduzza Bannayuganda emitima.

Bye bazudde mu kunoonyereza kuno bivudde mu Bannayuganda 1600 okuva mu bitundu eby'enjawulo okwetoloola eggwanga wakati w'omwezi gwa May ne June 2020.

OKUNOONYEREZA BYE KUZUDDE

Bannayuganda bangi bakendeezezza ensasaanya okutuuka ku bitundu 30 ku 100 bw'ogeraageranya ne sente zebasasaanyanga mu mwezi gwa January.

Okutwaliza awamu amaka mangi galaga nti sente zebasasaanya zeesala okuva ku 14,100/- buli lunaku zebasasaanyanga mu January nga kati basasaanya waakiri 10,800/- kyokka basigala ebyetaago ebimu tebabifunye.

Wabula abasinze okukosebwa beebo abali mu bitundu by'ebyalo, sente zebasasaanya zeesaze okuva ku 14,600/- okutuuka ku 10,300/- ate mu kibuga bavudde ku 13,100/- kati basasaanya 12,300/- ng'ate ebyetaago ebimu tebabifunye.

Amaka agatasobola kufuna byetaago byonna geeyongedde okuva ku bitundu 22 ku 100 mu January okutuuka ku bitundu 26 ku 100.

Olw'embeera eriwo bwe baabuuziddwa gye bayinza okuddukira okusaba obuyambi, abantu 3 ku buli 8 baategeezezza nti tebasobola kusaba buyambi okwawukanako bwe kyali mu January abantu 2 ku 8 bwe baategeeza nti tebasobola kusaba buyambi.

Abalala abakkiriza okuyambibwa, kuliko batono nnyo abayinza okuddukira mu mikwano, abasing obungi baddukira mu banganda okwawukanako ne bwe kyali mu January omwaka guno.

Abantu embeera bwebakaluubiridde ennyo basazeewo okutunda ku bintu byabwe oba okunoonya emirimu egya lejja lejja mu kusooka gye baalabanga ga tegigya mu kitiibwa kyabwe.

Abantu bakendeezezza nnyo ensasaanya, mu okuva ku bitundu 37 ku 100 mu January okudda ku bitundu 26 ku 100 mu May ne June 2020.

Ababadde bagula ebintu nga basasula mu buliwo bakendedde okuva ku bitundu 22 ku 100 okudda ku bitundu 19 ku buli 100 mu kiseera kya Corona.

Amaka agasangibwa mu bitundu eby'ekibuga galina omukisa munene okufuna ku buyambi okusinga ag'omubyalo kubanga abagaba obuyambi balowooza nti ow'omukyalo asobola okugend amu nnimiro n'asima emmere n'anoga ne doodo n'awuuta nga tasasaanyissa sente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...