TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Abatuuze b'ekira basomeseddwa ku ngeri gye bagenda okuganyulwa mu nkola ya MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomeseddwa ku ngeri gye bagenda okuganyulwa mu nkola ya MYOOGA

Added 10th July 2020

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga bakola ebintu ebibaggya mu bwavu kibayambeko okukulakulana.

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga bakola ebintu ebibaggya mu bwavu kibayambeko okukulakulana.
Kasola agambye nti kyenyamiza nnyo abantu okukeera ne boogera ku byobufuzi paka obudde okuziba kyokka nga n'oluusi abantu beboogerako tebabategeera ekintu kyagambye nti kyekimu kubisinze okukuumira abantu mu bwavu.
Kasolo okwogera bino abadde Kira Municipality bwabadde asomesa abantu abakola emirimu egifanagana okwemanyiiza enkola eyokutereka olwo basobole okuyambibwako ensawo ya President emanyiddwa nga Presidential Initiative on Wealth and Job Creation  gyetuuma "EMYOOGA"
Enkola eno ey' EMYOOGA  yakukola ku bantu abetegese nga batandiseewo ebibiina ebyenjawulo nga batandise okutereka ku ssente ku akawunti zaabwe eranga buli kibiina kyakuweebwa obukadde 30 okwongereza kuziterekebwa ekibiina.Ayongeddeko nti enkola eno terina muntu yenna gwesosola naddala mubibiina byebyobufuzi.
Alfred Ejanu Eboko nga yakulira ebyensimbi nenzirukanya yemirimu munkola y'e MYOOGA ategeezezza nti okusobola okutambuza obulungi ebibiina bino, buli kibiina kikirizibwa okuva kuba memba 7-30 .
Omukolo guno gwetabiddwako n'omuyimbi Bebe Cool ng'ono akubiriza abaddukanya enkola ey'EMYOOGA  okufaayo nnyo okwongera okunyikiza okusomesa abantu abemitendera egyenjawulo kibayambeko okuyingira ekintu kyebateera obulungi.
RDC wa Wakiso Rose Kirabira avumiridde abantu abatafaayo kunteekateeka eziba zireeteddwa Gavumenti kyagambye nti kirese bangi emabega

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...