TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ab'e Korea batandise kampeyini y'okugaba omusaayi okutaasa abatawanyizibwa Corona

Ab'e Korea batandise kampeyini y'okugaba omusaayi okutaasa abatawanyizibwa Corona

Added 13th July 2020

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

AB'E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Enteekateeka eno yawomeddwamu omutwe aba Shincheonji Church of Jesus nga bakwataganye n'ekitongole kya Korea Centers for Disease Control and Prevention.

Enteekateeka eno eruubiriddwamu okukung'aanya omusaayi okuva ku bantu abawonye Corona basobole okugukolamu eddagala erijjanja abalala mu nkola eya plasma.

Basimbye bbaasi z'ekitongole kya Red Cross ekya Korean Red Cross ku mulyango gw'eddwaliro lya Kyungbook National University Hospital wezigenda okumala ennaku ttaano nga zikung'aanya omusaayi.

Enkola egobererwa e Korea, abantu abewaayo okugaba omusaayi babasasulayo akasente wabula abagoberezi mu Daegu Church of Shincheonji basazeewo okuwaayo omusaayi nga tebasasuddwa bayambeko okutaasa obulamu bw'abalala.Omulimu guno gutandise olwaleero Mande July 13 okutuuka ku Lwokutaano July 17 nga buli lunaku baggya omusaayi ku bantu 500.

Eyatandikawo ekkanisa ya Daegu Church of Shincheonji , Man Hee Lee yategeezezza nti mu kaweefube ono baluubirira okukunga abagoberezi 4,000 bebagenda okuwaayo omusaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....