TOP

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu nnyumba bamudduukiridde

Added 14th July 2020

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa.

OMUZANNYI w'emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw'okulemererwa okusasula ensimbi z'obupangisa adduukiriddwa.

Lubega eyawangudde empaka za Mr Kampala ez'omwaka oguwedde yagobeddwa land Lord we eyategerekeseeko erya Nabukenya mu nju ye lwa butamusasula nsimbi emitwaalo 750,000/= ez'emyezi etaano egisembye.

Wabula mu kiseera kino Lubega adduukiriddwa abazira kisa aba ‘University of Pain Gym' bwe bamukubye enkata ya nsimbi 1,000,000 n'ebikozesebwa okuli omuceere, akawunga, amagi, sukaali n'ebirala.

Babimutwalidde e Busega gy'abadde yaddukidde ewa mukwano gwe oluvanyuma lw'okumufuula mu nju e Natete Kinaawa gy'abadde asula.

Ababimuwadde bakuliddwa Ruben Roberts nyini University of Pain gym, Milton Roberts, Isaac Mubikiirwa eyakawangula engule ya Mr.Uganda ey'okuzimbya emifumbi emirundi esatu egy'omudiringanwa n'abalala era Lubega abeebazizza olw'omuddukirira mu mbeera enzimbu mwabadde atubidde

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...