
OMWANA amutundidde nyabwe ate nga Namwandu mu kibanja bba kyeyamukera n'ategeeza nti nyina ateekeddwa okuddayo ewabwe e Busoga.
Bino bibadde ku kyalo Mataba mu ggombolola y'e Kayunga era nga omwana Walusimbi Isma yeyatunze ekibanja nyina Zainah Nalubowa mw'atudde emyaka 36 egiyise era nga awo bba Ibrahim Mayanja eyafa mu 1985 weyamuleka.
Omwana Walusimbi akalambidde nti teyejjusa kutunda kibanja olw'empisa za nyina ezifaanana ez'abasezi kubanga aziikamu abafu abatamanyiddwako gy'abajja.
Walusimbi akoze olutalo n'awanyisiganya ebosongovu ne nyina nga bw'amulangira obunnanfuusi.
Yekobaanye ne "Money lender" era omukadde Nalubowa abadde ali awo nga "Money lender atuuse n'atandika okusimba empaanyi mu kibanja okukisala poloti olwo n'akatema omukadde nti abaana ekibanja bakimuguzizza.
Omukadde yekubidde enduulu mu ofiisi ya Collins Kafeero alondoola ebintu by'abafu era Kafeero nga ali n'abekika ky'omugenzi n'abataka bakubye olukiiko okuddiza omukadde amakaage bba mweyamuleka.
Kafeero asazizzaamu obuguzi bwonna kubanga abaana baatunda mu bukyamu era n'alagira omukadde adde mu makaage.
Abataka okubadde ne Supreme Khaadi wa Greater Mukono sheikh Abdunoor Kakande bavumiridde eky'omuvubuka ono okugobaganya nyina ne bamulagira yetonde.
Owa poliisi n'omuntu wa bulojjo e Kayunga Paul Ssali awabudde eyagula amaka g'omukadde nti ateeseganye n'eyamuguza aleme kuviiramu awo.