TOP

Omukungu wa NRM ali ku gwa kwezibika obukadde 115

Added 13th September 2020

OMUKUNGU wa NRM asindikiddwa mu kkomera e Kitalya ku bigambibwa nti yabba ssente z’ekibiina obukadde 115.

Mayambala

Mayambala

Lawrence Mayambala 49, avunaanyizibwa ku kukunga n'okuyingiza abapya mu kibiina kya NRM yasimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo ku Lwokutaano n'avunaanibwa okubba ssente z'ekibiina obukadde 115.

Omulamuzi w'eddaala erisooka mu kkooti eno, Abert Asiimwe yamusomedde omusango gw'okubulankanya n'okubba ssente z'ekibiina ssaako okwekobaana okuzza omusango. Mayambala emisango gyonna yagyegaanye.

Oludda oluwaabi lugamba nti Mayambla n'abalala abakyanoonyezebwa nga August 16, omwaka guno mu ofiisi ye ku Kyaddondo Road mu Kampala yabba 115,817,000/-, ssente ezaali ziteekeddwa okukola ku mirimu gy'ekibiina.

Ssente zaali za kutegeka akalulu k'abavubuka akaakubwa mu August kyokka ssente ne bazibuzaawo nga tezikoze mulimu gwazo.

Omuwaabi wa gavumenti Harriet Angom yategeezezza nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso era bakyanoonya abalala Mayambala be yazza nabo emisango.

Omulamuzi Asiimwe yamusindise mu kkomera okutuusa ku Mmande nga September 14.

OMUKUNGU wa NRM asindikiddwa
mu kkomera e Kitalya ku
bigambibwa nti yabba ssente
z'ekibiina obukadde 115.
Lawrence Mayambala 49,
avunaanyizibwa ku kukunga
n'okuyingiza abapya mu kibiina
kya NRM yasimbiddwa mu kkooti
ewozesa abalyake n'abakenuzi
e Kololo ku Lwokutaano
n'avunaanibwa okubba ssente
z'ekibiina obukadde 115.
Omulamuzi w'eddaala erisooka
mu kkooti eno, Abert
Asiimwe yamusomedde omusango
gw'okubulankanya n'okubba
ssente z'ekibiina ssaako okwekobaana
okuzza omusango.
Mayambala emisango gyonna
yagyegaanye.
Oludda oluwaabi lugamba nti
Mayambla n'abalala abakyanoonyezebwa
nga August 16,
omwaka guno mu ofiisi ye ku
Kyaddondo Road mu Kampala
yabba 115,817,000/-, ssente ezaali
ziteekeddwa okukola ku mirimu
gy'ekibiina.
Ssente zaali za kutegeka akalulu
k'abavubuka akaakubwa mu August
kyokka ssente ne bazibuzaawo
nga tezikoze mulimu gwazo.
Omuwaabi wa gavumenti
Harriet Angom yategeezezza nti
okunoonyereza kukyagenda mu
maaso era bakyanoonya abalala
Mayambala be yazza nabo emisango.
Omulamuzi Asiimwe yamusindise
mu kkomera okutuusa
ku Mmande nga September 14.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...