TOP
  • Home
  • Agawano
  • Yadde mwannyimye kaadi naye nkyali wa NUP era ku Kyagulanyi kwenfiira - Chameleon

Yadde mwannyimye kaadi naye nkyali wa NUP era ku Kyagulanyi kwenfiira - Chameleon

Added 1st October 2020

Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleon, y'omu ku baasunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya ku bwannamunigina ku kifo ky’Obwaloodi Meeya, nga talina kibiina mwaggyidde.

Chalemeon ng'awaga oluvannyuma lw'okumala okwewandiisa. Ebifaananyi bya STUART YIGA

Chalemeon ng'awaga oluvannyuma lw'okumala okwewandiisa. Ebifaananyi bya STUART YIGA

Bya Stuart Yiga

Akulira eby'okulonda mu Divisoni y'e Nakawa, Fredrick Muwaya ye yalangiridde Mayanja, ng'omu ku beesimbyewo oluvannyuma lw'okutuukiriza ebisaanyizo ebyetaagisa ku ofiisi z'akakiiko ezisangibwa e Ntinda.

Chameleon yagambye nti wadde tetyaweereddwa mukisa kuvuganya ku kaadi ya NUP, akyali mmemba wa kibiina omujjuvu era ku Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), kw'afiira ku bwa Pulezidenti olw'ensonga nti bafaanaganya endowooza y'enkyukakyuka.

Yaweze okumegga bonna be yeesimbyewo nabo n'agamba nti ye 'Majegere' tewali ayinza kumuwangula era nga akabonero ke ssaawa.

Eyali omubaka wa Makindye East mu Palamenti, Michael Mabikke, ne Henry Lubowa, be baamusembye nga yeewandiisa.

Ng'amaze okwewandiisa, Mayanja, yalidde mu ndago oluyimba lwa ‘Baakusanga okoledde' olwo abawagizi be ne baleekaanira waggulu ekyawaliririzza abeebyokwerinda okumulagira ayingire mu mmotoka ye eyabadde enjeru ekika Kya Land Cruiser V8, bamuwerekere adde ewuwe.

Yavudde ku kitebe ky'akakiiko wakati mu kukubirwa emizira n'enduulu okuva mu bawagizi be nga eno bw'abawuubirako era nga bw'awaga.

Bwe yabadde tannawandiisibwa mu butongole, Chameleon, yalumbye Lukwago, gwe yagambye nti ku myaka ekkumi gy'amaze ku bwa Loodi Meeya, talina kipya ky'ayinza kuleetawo mu Kampala mu myaka etaano egiggya.

"Kampala yeetaaga abakulembeze abapya abalina endowooza empya omuntu w'awansi lwajja okumweyagaliramu," Chamiiri bwe yagambye.

"Mpagira People Power, ne NUP, nga ekibiina wadde nga neesimbyewo ku lwange ng'Omuntu, era nina essanyu nti kati ndi kandideeti omujjuvu tugende mu kisaawe twegere eryanyi abantu be banaasalawo asinga,"Mayanja bwe yategeezezza.

Abeegwanyiza ekifo ky'obwa Loodi Meeya bali mukaaga ng'abalala kuliko;  Meeya aliko, Ssaalongo Erias Lukwago, Beatrice Kayanja, eyeesimbyewo ku kaadi ya DP, Isaac Ssendagire, atalina kibiina mwajjidde, Innocent Kawooya, Ben Lule, bombi nga tebalina kibiina mwe bajjidde, wamu ne Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Raga Dee, ono nga y'akwatidde NRM, bendera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....

Ekyatutte Paasita Bujjingo ...

Omusumba w’ekkanisa ya House of prayer Ministry International, Aloysius Bugingo yagugumbudde abantu abaavuddeyo...

Omugenzi Yiga yali ne Nabbi Omukazi.

Ebigambo bya pasita Yiga eb...

OMUSUMBA Augustine Yiga Abizzaayo ow’ekkanisa ya Christian Revival Church Kawaala abadde mwogezi akunkumula n’ennyenje...