TOP

Ameefuga g'emyaka 58: Okwongera ku bungi bw'ebikolerwa wano kujja kutubbu

Added 11th October 2020

Polof. Baryamureba

Polof. Baryamureba

OKWONGERA KU BUNGI BW'EBIKOLERWA WANO KUJJA KUTUBBULA

Pulof  Venansius Baryamureeba ye ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'ettendekero lya Uganda Tech & Mgt University (UTAMU)  akulira (cansala) wa Ibanda University, yakulirako ne yunivasite ya Makerere;

Abaasooka essira baalissa nnyo ku kulima ebirime eby'ettunzi  ebisobola okutundibwa ebweru w'eggwanga nga; emmwaanyi, ppamba ate n'abantu baali batono okusinga bwe guli kati.

Bannayuganda baalimanga emmere gye balya n'okulunda ebisolo byabwe era tebaaagulanga nnyo bikozesebwa nga babyetuusaako.

Ebintu ebyakozesebwanga byavanga mu maka, nga buli maka galima ebintu ebyo ebikozesebwa tebaakozesanga nnyo bintu biva bweru wa ggwanga, ebibiina by'obwegassi  byali bya maanyi ebyayambanga okugula ebirime by'abantu ku bbeeyi ennungi ne bakulaakulana.

 Abakulembeze abazze babaako oluvannyuma lw'okufuna obwetwaze, baasumbuyibwa entalo ezatta ebyenfuna by'eggwanga nga Uganda ezze yeenyigira mu ntalo z'ebyobufuzi  okuviira ddala ku meefuga okutuukira ddala mu 1986 n'okusukkawo, entalo ezo zaasigalawo okutuuka mu 2006.

 Oluvannyuma lw'abantu okweyongera obungi, Uganda tekyasobola kukozesa bajeti yaayo nga tefunye buyambi, obuyambi obuva ebweru w'eggwanga busukka ebitundu 20 ku 100 ku mbalirira y'eggwanga.

 

 Christopher Iga,yaliko meeya wa Kamapala 1989-1998, yaliko omubaka wa pulezidenti e Masaka ne  Bushenyi;

 

Abazungu abajja okutufuga baaleeta ebirime eby'ettunzi okwali; emmwaanyi, ppamba, bwe twamalanga okunoga ppamba nga tumusunsula okuggyamu ffiifi,  ng'emiti egisigala tugyokya okulaba nti ppamba ali ku mutindo era abaami b'ebyalo baalambulanga okukakasa nti ddala ali ku mutindo omulungi.

Emmwanyi twazaanikanga ku njazi n'okuzizimbira ebitandaalo zireme okugendamu ttaka, ate nga tunoga zengedde zokka,  ng'ebintu biba bya mutindo nga byettanirwa  ku katale, naye leero abantu balina omululu gwa ssente bawulula buwuluzi ,kye kyasuula akatale ka Vanilla.

Twetaaga ebintu ebiri ku mutindo tusobole okufuna akatale k'ensi yonna, bwe tunaazimba omutindo tujja kuba tuzimbye ebyenfuna.

Twalinanga ebibiina by'obwegassi, abalimi gye baatundanga ebirime byabwe ku bbeeyi ennungi, nga buli maka waliwo omusiri gwa Kabaka, guno gwabanga gwakuggyamu ssente, nga ziba zizo si za Kabaka.

Tuddeyo ku nkola eyo buli maka gabeeko ekintu eky'ettunzi kye galima oba kye gakola, oba ekitundu nga kimanyikidddwa nti ekitundu gundi kye kirima muwogo oba emmwaanyi nga Buddu bwe yali emanyiddwa mu kulima emmwaanyi ne ppamba.

Abavubuka bateekebwemu omutindo ate babaagazise okulima kubanga ebyenfuna byaffe okusinga byazimbibwa ku bulimi, bateekebwemu  amaanyi, eby'okulima birinnyisibwe omutindo.

Twandibadde tugenda mu maaso mu byenfuna  naye ekigendererwa kyaffe kye twalwanako nga tugenda okwefuga  kisuuliddwa,  ebyobulimi bisuuliddwa  bangi batunda ebibanja byabwe ne bajja mu bibuga okuyingira ebyobufuzi. Ebyobufuzi  nakyo kifuuse ekizibu  ky'ebyenfuna byaffe.

Entalo ezizze zibaawo okuva ku meefuga nga buli gavumenti ejja eyingirawo na mmundu,  bitukoze bubi nyo, abakulembeze ba wano  balina omuze okuva  mu ofiisi n'atagiwaaayo mu butongole eri amuddidde mu bigere.

Kyetaaga omuntu ali mu kifo eky'enkizo okuwaayo ofiisi eri munne amuddiridde, n'amuyitiramu  n'amanya w'atandikira,  nze bwe nakola namala ne Wasswa Ziritwawula gwe naddira mu bigere ennaku bbiri ng'annambululira ebibadde bikolebwako mu kibuga n'okunjigiriza bye simanyi.

Kyokka nze bwe navaako omugenzi Ssebaggala eyanzirira mu bigere teyanzikiriza kumukwasa ofiisi mu butongole, ekintu ekyo kikyamu era kitukosezza kinene,  nti ne gavumenti zaffe zizze zikyuka awatali kuwaayo buyinza mu butuufu , buli omu akola kikye ky'azze nakyo tazimbira ku ky'asanzeewo.

Edda omukulembeze yategekebwanga kuva wansi ku muluka ate nga nagwo guliko guleedi, nga;  mumyuka, mumyuka ssabagabo, mutubagumu, mituba ebiri , mituba esatu  ne kumasaza nayo bwe kyalinga, ng'omuntu agenda okulondebwa mu kifo eky'amaanyi ng'amaze kuteekebwateekebwa bulungi,  kubanga ebyenfuna n'obukulembeze bitambulira wamu.

Ekiriwo kati,  asinga okuleekaana gwe bawa obuyinza nga tebatunuulidde wadde busobozi bwe ekizing'amizza ebyenfuna yaffe, bagamba nja kubasakira obuyambi mu kifo ky'okubateekamu amaanyi ageekolera.

Obuzibu we bwava,  Abazungu okutuwa obwetwaze mu 1962, baaleka tebateeseteese bakulembeze, Obote bwe yatuula mu ntebe n'aggyawo Ssemateeka wa 1962 eyalimu ekkomo ku bisanja by'obukulembeze, ssinga teyagiggyaawo n'okuggyawo Obwakabaka, ebyenfuna byaffe byandibadde waggulu.

Twetaaga kuddayo buto okuzimba eggwanga, wadde nga guno mulimu munene,  naye ekyo kye twetaaga, tuddemu tutuule tulabe kye tufiiriddwa tuddemu tuzimbe.

Ekkomo ku bisanja by'obukulembeze kikulu nnyo era kyakuyamba okutumbula ebyenfuna, nga buli mukulembeze alina ebbanga eggere erimugerekebwa okubeera mu kifo ekyo tusobole okufuna enkyukakyuka mu byonna n'ebyenfuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...

Bamugemereire

Abakulembeze abaalondeddwa ...

BANNABYABUFUZI abaakalondebwa balagiddwa okweteekateeka okwanjula ebyobugagga byabwe ng'etteeka ly'abakulembeze...