TOP

'Abakyalina kkaadi za mmotoka eza kiragala mulina bicupuli'-URA

Added 4th October 2012

EKITONGOLE ky'omusolo ekya URA kirabudde abagula n'okutunda mmotoka ku ffoomu za tulansifa enkadde ezibaddewo nti tezikyakola.

Bya SAMUEL BALAGADDE
EKITONGOLE ky'omusolo ekya URA kirabudde abagula n'okutunda mmotoka ku ffoomu za tulansifa enkadde ezibaddewo nti tezikyakola.

Ne bw’ogifuna tekyakugasa kubanga emmotoka esigala ebalibwa ng’ey’oli eyagikuguza.

Kino kiddiridde URA okudibya enkola ya kkaadi za mmotoka eza kiragala mu
nkola empya ey'okweyambisa yintanenti mu biwandiiko bya mmotoka.

Sarah Banage, omwogezi wa URA yagambye nti abo bonna abalina "tulansifa foomu" wamu ne densite z'abo abali mu kkaadi za mmotoka ze balina nga tebakolanga tulansifa, bagende babanoonye babakyusizeamannya mu kkaadi ng'enkola by’eri kati.

Yagambye nti omuntu ali mu kkaadi ya mmototoka y'alina okukyusa amannya ge era nga kkaadi za kiragala eziriwo bwe zizzibwayo ng'oweebwa enjeru ez'olupapula olweru olwabujjo wabula nga kuliko sitampu ya URA.

Wabula abaagula mmotoka ne baweebwa kkaadi zaazo wabula nga bannannyini zo bababuze, balina kweyambisa mateeka nga bayita mu kulanga mu mpapula z'amawulire ezisinga okusomwa mu kitundu mw’oli n’olaga amannya gaabwe oluvannyuma bagende mu kkooti bakole ekirayiro oluvannyuma bagende mu URA okukola tulansifa.

Bw’aba nga eyakuguza mmotoka yafa, ensonga zirina kukolwako ofiisi ekola ku bintu by’abafu (Administrator General).

Kkaadi empya ezigambibwa za bwereere wabula bw'ogisuula olina okuddamu okugisasulira 32,000/-.

Kkaadi eyo bw’egwa mu mazzi, omwana bw’agiyuza oba okwonooneka mu ngeri endala yonna kyokka n’esigala ng’ekyasobola okulabika era URA ekuwa yabwereere.
 

 

‘Abakyalina kkaadi za mmotoka eza kiragala mulina bicupuli’-URA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu