TOP

Mbuulira mmotoka gy'ovuga nkubuulire emize gyayo

Added 25th October 2013

KIZIBU okusanga omuntu atayagala kuvuga mmotoka, wabula abamu bagula mmotoka ate ne zibafuukira olukokobe. Okimanyi nti buli mmotoka erina emize egigimanyiddwaako era gy’olina okwegendereza bw’oba ogigula?



Bya EDWARD SSERINNYA

KIZIBU okusanga omuntu atayagala kuvuga mmotoka, wabula abamu bagula mmotoka ate ne zibafuukira olukokobe.
Okimanyi nti buli mmotoka erina emize egigimanyiddwaako era gy’olina okwegendereza bw’oba ogigula?

Isahaq Nsereko, makanika wa mmotoka okuva mu Good Way Auto Garage akunnyonnyola ku bika bya mmotoka ez’enjawulo n’ebizibu byazo.

Premio: Waliwo eza cc1600, 1800 ne 2000, mmotoka zino tezirina nnyo mize, wabula eya cc1600 etta nnyo yingini kuba bagirekera akayumba ke kamu ate ne bagiwa yingini entono.

Mark II: Naddala zino enkola empya, ggiyabookisi ne ddiifu baabigatta, kati kyangu nnyo okubitta era zibitta nnyo, ekirala mmotoka zino zisikira mabega nga bw’otuuka mu kaseerezi tosala.

Raum: Butta nnyo beyalingi (amasasi) z’oluggi, bwagala kuvugira mu nguudo zitaliimu binnya kuba butta nnyo sakabuzooba ne beyalingi.

Mazda: Zino zitta nnyo yingini, zikolebwa ne kompyuta y’emu egatta yingini ne ggiyabookisi ate tezikanikikika.

G-Touring: Eteri ya seppulingi eza kagogo, singa ogisanga nga ya 4WD, etta nnyo ggiyabookisi, emalako mangu bukulaaci ate etta nnyo zi sensa z’omuliro.

Harrier: Mmotoka ya kiroodi, sipeeya waayo wa bbeeyi, etta nnyo koyiro za pulaaga , ate ne pulaaga zennyini nga zifudde eziboola.

Starlet: Kano akamotoka ekibi kyako nti tekasaana kukavuga lugendo luwanvu kuba kawuguka ku kkubo,

Nadia: Ng’oggyeeko modulo empya nga Type Su ezizze zikyuka yingini, naye Nadia enkola enkadde erina yingini ya D4, ya ntondo era efaafa yingini.

Probox: Mmotoka eno mpya ku katale ka Uganda, singa ogisanga nga si ya 4WD eba ewuguka,  n’omala ogivuga sipiidi ennene kyangu okugwa.

Noah: Singa ogisanga nga si ya 4WD, ezisinga zisikira mabega ziba ziseerera nnyo, ate eya 4WD etta nnyo ggiyabookisi, dulayivingi safuti mu maaso, Ball Joint ne sakabuzooba okwo kw’ossa ne buusi ebitta nnyo.

Toyota Hiace: Abangi bagiyita ‘Kigege’ , eno engeri gy’ekola ennyo takisi kuno, etta nnyo enkoba za yingini, beyalingi nazo zifa ne sakabuzooba.

Vitz: Kano kamotoka kanafu, kalina beyalingi ennafu ate kazitta nnyo naddala ez’emabega.

Duet: Kano nako kanafu, naye ekibi kyako olaba ng’akamotoka akangu naye sipeeya waako talabika, bamuseera ate muzibu okufuna era nga kaafudde osobola okukeekokkola.
 

Mbuulira mmotoka gy’ovuga nkubuulire emize gyayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...