
Bya Samuel Balagadde
WALI otaddeyo omwoyo okumanya obutuufu bwa yinsuwa ya 3rd Party, layisensi ya PSV oba pamiti yo awatali kukakibwa?
Okimanyi nti ebintu bino oluusi biyinza okukuswaza ekisusse olw’okuba bicupuli naye ng’obadde obikozesa tomanyi?
Ebbula ly'ensimbi bwe lyeyongedde mu ggwanga ne bannaansi ab'omwoyo omutono ne batandika okucupula pamiti, 3rd Party , PSV ne pamiti.
Mu bikwekweto poliisi y'ebidduka by’ekoze kizuuliddwa nga pamiti , 3rd Party ne PSV bingi byeyambisibwa ku bidduka wabula nga bannannyi byo tebakimanyi nti bicupuli.
Poliisi y’ebidduka n’ekibiina ekigatta abaddukanya kkampuni za yinsuwa mu ggwanga baakoze ekikwekweto eky’awamu mwe baakwatidde yinsuwa za 3rd Party ez’ebicupuli ku bidduka mu Kampala n’emiriraano wabula ng'abaakwatiddwa abamu baabadde tebakimanyiiko nti ebicupuli bino baabigulira ku bidduka
Yinsuwa zino zaasinze kukwatibwa ku mmotoka za takisi ssaako n’eza buyonjo n’ezimu zaagulibwa mu bondi za mmotoka ate endala nga baazongerayo ekiseera kwe zirina okuggweerako nga beeyambisa ebiragalalagala okusangula bwino. Nasser Matovu, omukugu mu bya yinsuwa okuva mu kitongole ekigatta aba yinsuwa mu ggwanga ekya Uganda Insurers Association yategeezezza nti okucupula yinsuwa za 3rd party kweyongedde y’ensonga lwaki batandise ebikwekweto.
Yagambye nti wadde nga baakyusa endabika yaazo naddala kw’ezo ezaagabaibwa okutandika nga February 1, ne bazissaako ebintu eby’enjawulo ebizibu by’okucupula, bangi bakyagenda mu maaso n’okugula ezo ezitundibwa abalabbayi.
Afande Arinaitwe okuva ku CPS mu Kampala eyakulidde ekikwekweto kino omwabadde n’okusomesa ab’ebidduka ku ngeri y’okwewalamu okugula yinsuwa ez’ebicupuli e Kabalaga n’e Gaba ku Lwokubiri yagambye nti baatandise okunoonyereza ku bifo awakolerwa yinsuwa zino ez’ebucupuli. “Bangi ku bagudde ku bubenje bw’ebidduka balemereddwa okuliyirirwa okuva mu kkampuni za yinsuwa lwa kugula yinsuwa zino mu balabbayi,” Arinaitwe bwe yagambye.
Wabula bbo baddereeva abaasangiddwa n’ebicupuli bino baakyegaanyi nga bagamba nti bannannyini mmotoka be bamanya gye babigula. Bagamba nti obuseere bwa yinsuwa naddala eza pikipii ezikola ogwa bodaboda ssaako n’eza takisi kye kimu ku bivuddeko ebicuopuli.
Yinsuwa gy’ogula kyandiba ekicupuli