TOP

Lwaki abalwadde babasasuza ssente za paakingi mu malwaliro?

Added 29th May 2014

Omuwendo ogusasulwa emmotoka ezipaakinga mu malwaliro gusukkiridde obungi. Amalwaliro omuli Mengo, Mulago, Nsambya ne Lubaga ge gamu agasasuza emmotoka eziba zireese abalwadde n’abagenyi ababa bazze okukyalira abalwadde.



Bya Ronald Mugenyi

Omuwendo ogusasulwa emmotoka ezipaakinga mu malwaliro gusukkiridde obungi. Amalwaliro omuli Mengo, Mulago, Nsambya ne Lubaga ge gamu agasasuza emmotoka eziba zireese abalwadde n’abagenyi ababa bazze okukyalira abalwadde.

Eky’okusasuza emmotoka eziyingira mu malwaliro kyava ku bubbi obwali busukkiridde mu malwaliro gano. Poliisi ezitwala amalwaliro zaafunanga emisango egisoba mu 20 olunaku nga giva mu kusokoola mmotoka ezaabanga zireese abalwadde oba n’okulambula abalwadde.

Emmotoka zino zaasokoolwanga amataala, sayidimira, emipiira oluusi n’emmotoka ennamba okubulawo.
Amalwaliro kwe kukola entegeka esasuza emmotoka ezigayingira basobole okufuna ssente ezisasula abakuumi n’okukendeeza ku mujjuzo mu malwaliro olwo kikendeeze ku mujjuzo n’obumenyi bw’amateeka.

LUBAGA

Wano buli mmotoka eyingira eddwaaliro, ereese omulwadde oba ya mugenyi esasula 2,000/- nga zino za ssaawa bbiri ezisooka. Singa oyisa mu ssaawa ebbiri oyongerayo 500/- buli ssaawa gy’oyisaamu.

NAMIREMBE

Lino nalyo buli lw’oyingira osasula 1,000/- naye nga singa oba olina kye weerabidde n’ogezaako okufuluma, mu kuyingira oddamu n’osasula 1,000/- endala!

MULAGO

Wano emmotoka zaagobwa munda mu ddwaaliro ne bazifunira ekibangirizi ebweru w’eddwaaliro we zisimba naye nga nakyo kyakusasulira. Wano basasula 2,000/- ne bakuwa ne lisiiti ekola olunaku lulamba nga ne bw’oba ofulumye oyinza okudda ng’okozesa lisiiti y’emu.

Mu Mulago emmotoka ereese omulwadde ali mu mbeera embi ennyo gye bakkiriza okutuusa omulwadde ku kazalite, bagiwa kakkaadi akagikkiriza okuyingira nga kaliko eddakiika 30.
Singa eddakiika zo ziggwaako emmotoka bagifulumya wabweru olwo n’epaakinga mu paakingi y’olukale ey’okusasulira. 

Kino kireetedde obubbi obw’okusokoola amamotoka obwali busukkiridde mu malwaliro munda okukendeera. E Mulago kumpi buli awabeera emmotoka 10 ezipaakinze osangawo omuvubuka ali mu yunifoomu ya bbulu nga yaazirabirira.
Kagimu Musa Mulyagumu, akulira ekitongole ekisolooza paakingi y’e Mulago agamba: Okuva lwe twaweebwa omulimu guno nga 17/03/2014, obubbi bw’okusokoolasokoola emmotoka bwakendeera.

Twateekawo n’abalabirira emmotoka eba epaakinze okutuusa lw’evaawo. Yo munda mu ddwaaliro tetukkirizaamu mmotoka yonna okuggyako ez’abakozi n’abalwadde nga wano tuziwa eddakiika 30 okuggyamu omulwadde wo.

Nsaba abantu baffe ababa bazze mu ddwaaliro bagondere enteekateeka eno kubanga tugikola lwa bulungi bwa ddwaaliro n’emmotoka zaffe obutabbibwa nga bwe gwali.
Ssente ezisasulwa si nnyingi kubanga obukuumi obuweebwa emmotoka zino bwa maanyi era nga tuli mu nteekateeka okulaba nga tukendeeza ku ssente zino.

Enock Kusaasira, omwogezi w’eddwaliro ly’e Mulago yagambye: Enteekateeka eno eriwo kukendeeza ku bubbi obwali busukkiridde e Mulago nga kati kizibu nnyo essaawa zino okuwulira nti waliwo emmotoka ebbiddwaako ekintu kubanga esasula ng’egenda okupaakinga n’eweebwa obukuumi.

Atwala poliisi y’e Mulago, Kasinga Hashimu agamba nti Mulago yali afuuse etterekero ly’obubbi mu mwaka gwa 2000 kyokka kati bagezezzaako ekisoboka kyonna okukwatagana n’abe Mulago okulaba ng’obubbi bukendeera.
Emabegako twafunanga emisango egisoba mu 10 olunaku naye kati obubbi obusigadde mu ddwaaliro ly’e Mulago buli wakati w’abajjanjabi n’abalwadde.

 

Lwaki abalwadde babasasuza ssente za paakingi mu malwaliro?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...