Bya Samuel Balagadde
TUNUULIRA emmotoka ekkumi ezisinga okwettanirwa abaguzi mu bibanda bya mmotoka enkadde mu Kampala n’emiriraano.
Joseph Obwana ng’akola ku bibanda by’emmotoka enkadde eby’enjawulo e Nakawa agamba nti wadde nga tewali mmotoka eyinza kubulwako baguzi, waliwo ezimu ezikira ku zinnaazo mu kwettanirwa nga ne mu bibanda ebimu ebinene oyinza okutuukayo ebika ebimu ne bikubula
Ezimu ku mmotoka zino zirabikanga ezikadde ennyo omuli Isuzu Elf (1988-1989) ng’ezisinga ziba zirina kusooka kukolebwa okutandika okukola ku nguudo wabula ng’abaguzi bazettanira nnyo okuzisombya omusenyu, amayinja n’ebirala.
Abasuubuzi baagaddeToyota Elf olw’obukozi n’okunywa empola
Obwanga agamba nti Toyota Corolla 100 bakyagyettanira olw’okunywa obulungi, sso nga singa lugoye wandirowoozezza nti lwava ku lugendo.
Ekirala egula nseko, obukade 13 okutuuka ku 14. Toyota Premo Super (2000-2002) wadde eyagala okufaanana modulo za 1997 -1998 nayo bagyettanidde mu 2014. Eno egula obukadde 17.
Toyota Harrier zicaase mu 2014
Abafunye ku ssente baguze nnyo Toyota Prado TX , egula wakati w’obukadde 35 okutuuka ku 50 okusinziira ku bibanda eby’enjawulo. Bazinze kugula za dizero.
William Busuulwa, nga musuubuzi wa mmotoka agamba nti Toyota Harrier zijjumbiddwa mu 2014 olw’okuba nsitufu ate nga ne ssente zaazo si nnyingi.
Wadde enywa ku mafuta olwa yingini zaazo okubeera ennene ng’ezimu za cc3,000 ate endala za cc2,200 wabula kino Bannayuganda baakigumidde.
Noah Road Tourer (2000) nayo abaguzi bagyettanira
Harrier ezisinga okujjumbirwa zeezo modolo enkadde (1998) ku wakati w’obukadde 23 okutuuka 25 okusinziira ku ndabika wabula waliwo Harrier Modolo empya (2004) okudda wagguulu nazo zitandise okujumbirwa wabula nga zikyali ku buseere wakati w’obukade 65 okutuuka ku 75 okusinziira ku ndabika.
Toyota Noah Field Tourer , Road Tourer , Super Limo (1999-2000) nazo zeyongedde okwettanirwa Bannayuganda kuba nsitufu ate nga mmotoka za famile kuba zitikka abantu bangiko ate nga sipeeya waazo alabika, Ziri ku wakati w’obikadde 18 okutuuka 20 wabula nga waliwo ekika kya Noah ekipya eky’obukadde 23 ne 25ekitettaniddwa olw’okucamuka.
Toyoto Probox, Toyota Spacio, Toyota Starlet nazo zeeyongedde okwettanirwa mu 2014. Zirina yingini ntono, zikekkereza amafuta ate teziri ku buseere, zigula wakati w’obukade 13 okutuuka ku 14.
Abagagga abato baguze Land Cruiser mu 2014.
Toyota Kigege , Fuso Fighter ne Forward nazo zitunze nnyo mu 2014.
Joseph Kabali, omusuubuzi wa mmotoka enkadde agamba nti Noah ‘Baby Face’ abantu tebagijjumbidde naye Noah Voxy bagyagadde.
Emmotoka 10 ezisinze okwettanirwa mu bibanda mu 2014