TOP

Pikipiki: Ekidduka Bannayuganda kye bandyettanidde okwewala akalippagano

Added 5th March 2015

ROBERT Mwesigye muvuzi wa bodaboda ku siteegi ya Mega Supermarket era ng’omulimu guno yaakagumalamu emyaka 5.

Bya ALICE NAMUTEBI

ROBERT Mwesigye muvuzi wa bodaboda ku siteegi ya Mega Supermarket era ng’omulimu guno yaakagumalamu emyaka 5.

Agamba nti olunaku akozesa amafuta ga 10,000/- ne zimukolera 30,000/- okutuuka ku 45,000/- olunaku.

“Bodaboda nnungi kubanga emisolo gye tuwa si mingi, ne bw’oba ogitutte ku saaviisi ekinene ennyo ky’oyinza okusasula 12,000/ buli luvannyuma lwa wiiki bbiri,” bw’agamba.

Ye Musa Kawooya,  avugira bodaboda ku siteegi ya Bank of Uganda agamba nti okugula  pikipiki tekyetaaga ssente mpitirivu kubanga empya  tesussa  3,500,000/-, okwawukanako n’emmotoka.

“Tofuna buzibu na Multiplex abasolooza ez’okupaakinga mu kibuga era bw’oba olina bodaboda ssente zino obeera oziwonye era okutwaliza awamu bodaboda ekekkereza kinene nnyo bw’ogeraageranya ne takisi,” bw’agamba.

Simon Wavamunno, omuvuzi wa takisi z’e Mukono mu ppaaka enkadde agamba nti  bw’oba oyagala okuganyulwa mu takisi olina okugula empya kubanga ne kakutanda n’ogula enkadde obeera oguze bizibu ekitegeeza nti ogenda kuyiwaayiwa ssente buli kaseera.

Yadde nga takisi zikola ssente naye emisoso omuli lisiiti ezitaggwa , ssente za paakingi n’aba tulafiki abatuyiganya buli kiseera bakomekkereza obusente obutono bwe tufunye babututte.

Takisi empya etandikira ku bukadde 33 naye ng’obuzibu bwokka bw’eba erina bwa mupiira kubanga omupiira gumu okusinziira ku kika ky’oyagala gutandikira ku 150,000/- ne 230,000/.

Ate bw’ogula takisi enkadde,  buli lunaku ogenda kubeera mu galagi ng’okanika ate nga yadde tokoze olina okusasula layisinsi.

Omukugu mu by’emmotoka, Ishaka Bukulu okuva ku Shell Ben Kiwanuka agamba nti bodaboda n’emmotoka byawukanira ddala bwe kituuka ku ssente era nga kiva eri ggwe ayagala okumanya obuzito bw’ensawo yo naye nga bodaboda yo ekekkereza nnyo.

Bukulu agamba nti saaviisi ya bodaboda (ne pikipiki ezisinga) tesussa 12,000/- ate owa mmotoka nga takisi abeera wa 60,000/- ate ng’eno ekolebwa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri. Ebimu ku bikolebwako mu saaviisi mulimu okukyusa woyiro  nga mu bodaboda bateekamu liita emu kyokka mu takisi ziba liita zibeera 7.

Mu takisi ebintu nga ekyangwe, woyiro firita bikyusibwa naye ku bodaboda, okuggyako okukyusa woyiro, oluusi zibeera buleeci nga ze zirina obukyamu.

 

Sipeeya

Bukulu agamba nti sipeeya w’emmotoka wa bbeeyi nnyo, sipaaka pulaaga (ezikuba omuliro) bazitunda 50,000/- Oil filter 6,000/- ku 10,000/-, ekyangwe 20,000/- kyokka nga ku bodaboda ne pikipiki endala, buleeci zisinga kubeera ku 5,000/.

Tosobola kugeraageranya mmotoka na pikipiki bwe kituuka ku nnywa y’amafuta kubanga emmotoka zeetikka abantu bangi era n’amafuta gabeera mangi nnyo naye nga pikipiki ekinene ennyo babeera abantu basatu.

Liita y’amafuta mu pikipiki ezisinga etambula kiromita ezisoba mu 20 sso nga mmotoka eyinza okutambula kiromita munaana ku 12.

Bw’ogeraageranya nti ennaku zino akalippagano k’ebidduka kali buli wamu, pikipiki ekutaasa bingi okusinga emmotoka.

Pikipiki: Ekidduka Bannayuganda kye bandyettanidde okwewala akalippagano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...