TOP

Emmotoka 10 ezisinga okuwa emirembe

Added 23rd April 2015

SISINKANA emmotoka 10 Bannayuganda ze bavuga ezisinga okuwa emirembe ng’oli agivuga oba nga agituddemu. Kuno kuliko Benz, Lexus, Land Cruiser Harrier, Range Rover, Progres, super Custom, Golf, Chevrollet ,Kluger, Nissan Patrol, Land Rover ne Toyota Progres.

Bya GEORGE BUKENYA  NE BENADINO KATE


SISINKANA emmotoka 10 Bannayuganda ze bavuga ezisinga okuwa emirembe ng’oli agivuga oba nga agituddemu.
Kuno kuliko Benz, Lexus, Land Cruiser Harrier, Range Rover, Progres, super Custom, Golf, Chevrollet ,Kluger, Nissan Patrol, Land Rover ne Toyota Progres.

Engeri emmotoka zino gye zaakolebamu n’ebizirimu bye bizifula okuba nga ziwa emirembe. Okugeza yingini, emitto , emipiira ebisawo by’empewo n’ebirala. Emipiira gye gikoma okuba emigazi n’emmotoka gy’ekoma okuggumira ku luguudo.

Richard Bamuje, kitunzi wa kkampuuni ya Motor Care Uganda agamba nti obulungi bw’emmotoka bweyolekera ku sipiidi , engeri gy’eyisaamu abagirimu naddala bw’eba mu kkoona, oba ku nguudo z’ebinnya n’engeri gy’eziyiza amaloboozi agava ebweru waayo, okwanguyirwa okulaba ebiri mu maaso ga ddeereva n’engeri emitto bwe gyakolebwa.

Hamza Ntege, ddeereva w’omubaka wa Palamenti Latif Ssebaggala akozesa Land Cruiser Prado V8 agamba nti mmotoka eno tewulira binnya, nti bw’ebigwamu ggwe atudde munda oyinza obutakimanya.

Erina sakabuzooba ez’amaanyi, kino kigifuula okuba ey’emirembe, erina eppeesa ddeereva ly’anyiga ne lisiba emipiira ne ligiyamba obutakosebwa mazzi ate ku kasozi edduka ng’eri ku museetwe.

Nissan Patrol
Eno erimu ebika bibiri nga ku bino kuliko ekya Y62 modulo 2015 n’eya Y61 nga zikozesa mafuta ga Peetulooli. Ebimu ku bifuula Nissan Patrol eyomulembe era ng’ewa emirembe gy’emipiira emigazi, sakabuzooba zaayo za mannyi nnyo ng’omupiira bwe gugwa mu kinnya abalimu tebakiwulira, erina kompyuta emanyisa ddereeva ng’avudde ku luguudo n’okusoma maapu. Eno egula wakati w’obukadde bw’ensimbi 200 ne 435.

Land Cruiser Prado VX  ewa emirembe.

Range Rover
Erimu ebika bibiri okuli ekya Range Rover n’ekya Land Rover, Range Rover Sport erina amasannyalaze mu yingini nga g’ekozesa okwongera omukka mu mipiira gyayo ne gigaziwa. Bw’eba egudde mu kinnya kiyamba abantu abagituddemu obutakiwulira, erimu ebika eby’enjawulo okuli ekya Range Rover GMC Modulo 2014 , Lexus LX ne Posche Cayenne. Range Rover egula wakati w’obukadde 129 ne 329.

Land Cruiser Prado
Eno erimu ebika okuli ekya Land Cruiser Prado VX modulo 2009,modulo 2014 erimu naye ebika ebirala okuli ekya GX, GXL ne VX ate mudulo 2002 V8 ya CC4000. Tewulira binnya, yingini yaayo yakolebwa nga tekosebwa mazzi nga kino kigiyamba okuyita mu mazzi amangi. Ne bw’eba ku kasozi edduka ng’eri ku museetwe. Egula wakati w’obukadde 130 ne 245.

Benz
Eno y’emmotoka abasinga gye bagamba esinga okuwa emirembe nti buli kika kyayo kiwa emirembe olw’okuba ekolebwa mu byuma eby’amaanyi ng’ate eggumira ku ttaka.
Erina ebika ebiwerako era Bannayuganda bye basinze okwettanira kuliko ekya SL-Class, GL-Class , M-Class ne C-Class. Mercedes Benz ekolebwa mu ggwanga lya Girimaani eba ya nkizo kw’ezo ezikolebwa mu mawanga amalala kuba eggumira nnyo ku ttaka ate akayumba kakolebwa mu bbaati eggumu ennyo.

Toyota Harrier
Eno erimu ebika bibiri ekya Harrier Lexus ne Harrier Kawundo. Baddeereva abasinga bagamba nti esinga mmotoka entono ezisinga obungi mu kuwa emirembe kuba ngulumivu bulungi , erina emipiira migazi, yingini yaayo ya maanyi ate emitto migazi abamu bagamba nti ku nguudo za Uganda ezirimu ebinnya ekira ne Benz.

Toyota Kluger
Erimu ebika bibiri ekya GX ne GLX eno wadde ntono, nnungi ku ng’endo empanvu, erina kamera eyamba ddeereva okulaba ebiri emabega waayo. Ekika kya GLX tekirina bisumuluzo biggula nzigi, ekozesa limooti okuggula enzigi ate emitto gyayo gya ddiba.

Toyota Prado nga bw’efaanana

Super Custom
Eno mmotoka ngulumivu bulungi, sakabuzooba ziri waggulu. Kino kitegeeza bw’egwa mu kinnya atuddemu tawulira kinnya, erina ebyuma ebisika empewo nga bw’obera munda towulira bbugumu era y’ensonga lwaki ekozesebwa nnyo ku mulimu gw’okusaabaza abalambuzi.

Toyota Regius
Eno nayo ngulumivu bulungi era erina emitto egiwa omuntu agituddemu emirembe. Erina sseppulingi ezigiyamba obutawulira busirikko bw’ebeera ku luguddo, nayo erina ebyuma ebireeta empewo naye enywa nnyo.

Toyota Noah
Eno teyawukana nnyo ne Toyota Regius kuba ebintu by’erina ebisinga bifaananagana bulungi omuli emitto egyomulembe,obugulumivu,ebyuma ebireeta empewo n’ebirala.
 

Emmotoka 10 ezisinga okuwa emirembe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...