TOP

Olutalo lwa 'luutu' mu babbaasi

Added 7th May 2015

OLUTALO lubaluseewo mu baddukanya bbaasi ezisaabaza abantu eza lukale wakati w’abalina bbaasi empya n’enkadde n’engeri y’okufula luutu.

Bya Samuel Balagadde


OLUTALO lubaluseewo mu baddukanya bbaasi ezisaabaza abantu eza lukale wakati w’abalina bbaasi empya n’enkadde n’engeri y’okufula luutu.

Kino kyongedde omuze gy'okulwanira abasaabaze era emisango ku poliisi etwala ppaaka ya Kisenyi Bus Terminal mu Kampala gyeyongedde obungi ng'abasaabaze bawawaabira aba bbaasi.

Wiiki ewedde ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka ebisaabaza abantu mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) wamu ne poliisi y'ebidduka baatuuzizza olukiiko lwa bannannyini bbaasi abasaba okukolera ku nguudo ez'enjawulo mu ggwanga.

Abakola ku kugaba enguudo (route charts) okuyita ababa basaba wamu ne bannannyini bbaasi zikolerako okwewala okusika omugwa mu buddde bwe balina okutambuliramu.

John Mutenda, ssentebe wa TLB yagategeezezza nti obungi bwa bbaasi obuyingizibwa mu ggwanga bweyongedde ate ng'enguudo kwe zikolera ntono.

Yagambye nti abo abalina bbaasi ezikaddiye ennyo n’abo abatafaayo kuziddaabiriza nga zifiira ku makubo buli kiseera ne zibonyaabonya abasaabaze zituuse okubulwako we zikolera.
"Tetujja kumma layisinsi eri abo abalina bbaasi empya tudde kw'abo abalina enkadde ate nga tebafaayo kuziddaabiriza.

Entambula ya lukale ya kuvuganya era alina obusobozi y'agenda okuwangaalira mu mulimu guno," Mutenda bwe yagambyer.

Ebyetaagisa bbaasi okufuna route chart
lZigabibwa ekitongole kya TLB era layisinsi eno erambika ppaaka bbaasi mw’erina okusinziira okusaabaza abantu
lEraga obudde (essaawa) bbaasi mw’erina okusimbulirako okuva mu ppaaka ne mw’egenda okutuukira gy’eraga.

Obukwakkulizo bwa Route chart

Eweebwa bbaasi erina ddereeva alina layisinsi (Bbbaagi)

Bbaasi erina okubeera ne layisinsi ya PSV era ng'eri mu mbeera nnungi.

Bbaasi ezikola ewala awasukka kiromita 300 tezikkirizibwa kudda mabega kutikka basaabaze.

lBbaasi ezidda mu mawanga ag'ebweru zirina okubeera ne baddereeva babiri.

Emigaso gya route chart

Eyamba bbaasi okutadduka nnyo ekiyinza okuvaako obubenje .

Eyanguyiza poliisi okulondoola bbaasi n'aba agivuga

Patrick Mugisha akola okunoonyereza ku misango gy'ebidduka ku CPS yagambye nti bangi ku baddereva ba bbaasi bakwatidwa nga batyoboola ‘route chart’ nga bayita mu kutambulira mu budde obukyamu.

Francis Ofwono mu kitongole kya TLB avunaanyizibwa ku bbaasi yagambye nti bbaasi mu ggwanga wonna okutwalira awamu zisukka mu 1,000 ng'abasaba enguudo obuggya ssaako ne kkampuni za bbaasi ezongera ku bungi bwa bbaasi zaabwe nazo nnyingi.

 

Olutalo lwa ‘luutu’ mu babbaasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...