TOP

Toyota Duet: Emmotoka y'obuyonjo esinza emize

Added 21st May 2015

MMOTOKA za Toyota ze zisinga okuba ez’etttunzi mu Uganda. Muno mulimu Premio, Corolla n’ebika ebirala. Wabula mmotoka ya Daihatsu Storia nga bwe yafuluma mu kusooka naddala mu 1998, naye oluvannyuma yakyusibwamu mu 2000 ne bagifulumya nga Toyota Duet, ke kamu ku bumotoka obusinga okutawaanya ababuv

Bya EDWARD SSERINNYA


MMOTOKA za Toyota ze zisinga okuba ez’etttunzi mu Uganda. Muno mulimu Premio, Corolla n’ebika ebirala. Wabula mmotoka ya Daihatsu Storia nga bwe yafuluma mu kusooka naddala mu 1998, naye oluvannyuma yakyusibwamu mu 2000 ne bagifulumya nga Toyota Duet, ke kamu ku bumotoka obusinga okutawaanya ababuvuga.

Diriisa Bukenya ng’abeera Munyonyo agamba, “Nvuze Duet kati emyaka esatu singa si kubulwa ssente zigula mmotoka ndala nnandibadde nnagitunda dda. Akamotoka kano kasumbuwa nnyo mu yingini,” bw’agamba.
Bukenya agamba nti, Duet nnungi kuba ya cc900 era enywa kitono ddala. Liita emu esobola okukutambuza kiromita 18 ku 20. Mutuulamu abantu basatu era kanzigi bbiri.

Naye ng’omulungi bw’atabulako kamogo, ne Duet nayo bw’eri kuba mmotoka eno etera okufa mu mipiira ne mubaamu ebintu ebikubagana ate buli lw’ogyoza ng’etandika okupipira mu yingini n’okusikondoka nga mmotoka za kabyuleeta ezimu bwe ziba.

Ebibi bya Duet
Titus Muteesasira owa Good Way Auto Garage agamba nti, obuzibu bwe businga okuba nabwo singa okoolereza mu yingini buli kiseera kikaviirako okufa mu yingini kuba kaliko ekipiira kya kompyuta nga kino kiyitamu amazzi ne gayingira mu kompyuta ne keecanga. Ebiseera ebisinga kattiramu ne koyiro.

Ate sipeeya waako wa bbeeyi kubanga koyiro ezigenda ku pulaaga nazo za bbeeyi ate nga zifaafa. Koyiro zino ziri wakati w’emitwalo 15 ne 20; ku mmotoka nga Premio eza waya za pulaaga ziba wakati wa 20,000/- ne 30,000/- tolaba nga kaba ka ssente ntono.

Etera nnyo okufa ne beeringi z’amagulu emabega, bw’eba efudde egula 450,000/-, ate ku mmotoka eza bulijjo beeringi zaazo ziba za 60,000/- ku 70,000/-.

Ekirala ekitera okufa ku mmotoka eno y’eng’ombe, kuba eng’ombe yaako eyita mu ‘Airbag’ okusobola okuvuga bw’oba oginyize. Wabula bw’okooza amazzi gamanyi okukayingira ne kagaana okukuba eng’ombe! 

Toyota Duet: Emmotoka y’obuyonjo esinza emize

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?