TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ubi n'abatambulira ku mazzi beeyuna bujaketi obukoleddwa mu bucupa bwa sooda

ubi n'abatambulira ku mazzi beeyuna bujaketi obukoleddwa mu bucupa bwa sooda

Added 27th August 2015

Ebintu bingi by’olaba ng’ebitalo byamugaso bisobola okukozesebwa ne bivaamu ekintu ekirungi eky’omugaso.

Bya JOANITA NANGONZI

Ebintu bingi by’olaba ng’ebitalo byamugaso bisobola okukozesebwa ne bivaamu ekintu ekirungi eky’omugaso.

Ne Simon Wato, obucupa bw’amazzi ne sooda obwa pulasitiika abukolamu bujaketi obutaasa obulamu bw’abantu ku mazzi.

Wato mutuuze w’e Bweyongere mu Kira Town Council. Agamba nti bujaketi bw’akola bukozesebwa mu kuwuga (Life proof jacket) era ye muvubuka asoose okukikola mu Uganda.

Obujaketi buno yatandika okubukola mu February wa 2015 e Bweyogerere mu Bbuto. “Natunuulira bujaketi obukozesebwa mu kuwuga ennaku zino ne nzijukira ebidomola bye twakozesanga mu buto okuwugira mu bidiba ebyatuyambanga obutabbira.

Wano we nnaggya ekirowoozo ky’okukola bujaketi obutaasa olbulamu bw’abantu. Nkozesa bucupa bwa mazzi kubanga buwewuka ate bwangu bwa kufuna,” Wato bw’agamba.

Obucupa abutungako amaliba ng’akozesa empiso.

EBIKOZESEBWA

Obucupa bwa pulasitiika obukalu

1.Amaliba ag’ekika kya leza

2.Goozi

3. Glue.

4.Emisipi.

Ofuna eddiba ery’ekika kya leza n’opimira ku sayizi y’omuntu. Osooka n’otunga ekitundu eky’omu maaso ng’okozesa engalo ne goozi n’empiso.

Bw’opima n’olaba nga kisobola okugyamu obucupa munaana era nga kimala omuntu ,ngotandika okuteekako obusaawo omunagya obucuppa omunana.

Obusawo obutungira mu ddiba lye wasoose okutunga era nga bw’olekamu amabanga aganaakuyamba okutungiramu obucupa munda.

Ekintundu ky’omu maaso bwe kiggwa, tandika otunga eky’emabega era nayo oteekamu obusawo mukaaga omunaagenda obucupa.

Obusawo buno obutungibwa obugendamu obucupa tomala gabupima wabula osooka n’opima akacupa k’ogenda okukozesa.

Bw’omaliriza okutunga byonna era ng’olaba obusawo buteredde bulungi, ng’otandika okuteekamu obucupa ng'obusaanikidde bulungi busobole obutayisa mpewo era n’obutayingiramu mazzi.

Obucupa bwonna bwe buba buggweereddemu, butungire munda mu busawo ng’okozesa goozi n’empiso etunga engatto n’obuzibira mu ddiba, bw’omaliriza ng’otungirako emisipi egisiba .

Olwo ng’ossaako eddiba erisembayo n’onyweza goozi. Byonna bwe biggwa, teekako langi y’amafuta esobole okukwata obulungi amazzi galeme okuyitamu.

Wato agamba nti kimutwalira ennaku bbiri okutunga jaketi emu okuggwa kubanga akozesa ngalo.

SSENTE EZISSIBWAMU

“Ngula mmita emu n’ekitundu ey’eddiba erya leza ku o 12,000/-, lino limala okukola jaketi emu.

Glue oba gaamu nkozesa wa 2000/, emisipi 4000/-, ate obusiba 2000/- ne mba nga zonna awamu nkozesa 20,000/- okukola jaketi emu.

Kajeti emu ngitunda 50,000/- okufunamu amagoba. Ekirungi nti abalambuzi n’abakozesa entambula y’oku mazzi beeyongedde kale akatale weekali,” Wato bw’agamba.

EBIRUUBIRIRWA

Wato agamba nti wadde tannafunamu nnyo naye amanyi nti essaawa yonna akatale waakufuna akamumala okukola amagoba.

Agamba nti waakusomesa bavubuka banne okuyiga okuyiiya nga bw’akulaakulanya ebyentambula ku mazzi kubanga bangi babadde bafi ira ku mazzi olw’obutasobola kugula jaketi zibataasa okubbira olwa bbeeyi yaazo ebadde waggulu ennyo.

ubi n’abatambulira ku mazzi beeyuna bujaketi obukoleddwa mu bucupa bwa sooda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...