TOP

Catherine Kusasira annyonnyodde lwaki yeevugira Prado TZ

Added 17th March 2016

Catherine Kusasira annyonnyodde lwaki yeevugira Prado TZ

 Kusasira ng’alaga Prado TZ gy’avuga.

Kusasira ng’alaga Prado TZ gy’avuga.

OMUYIMBI Catherine Kusasira agamba nti mmotoka kye kimu ku bintu ebimuwa essanyu era mw’ateeka ssente ze.

Emyezi ebiri egiyise yaguze Prado TZ (abamu gye bayita Ordinary) modulo 1998 gy’oyinza okuyita mmotoka ensajja era kati mw’aliira obulamu.

“Nvuze ku bika by’emmotoka eby’enjawulo, esembyeyo ebadde Prado TX naye ng’oggyeeko okuba nti esikiriza olw’endabika yaayo kungulu (TX) ekyama nkizudde mu Prado TZ.

Ng’oggyeeko TZ okuba nti ya bbeeyi (nagiguze obukadde 65) ekekkereza amafuta kuba enywa dizero, mpangaazi ate edduka nnyo.

EBIRUNGI EBIGIRIKO

Olw’okuba Prado TZ enywa dizero, mmotoka eno ekekkereza. Nteekamu 20,000/- ne nvuga okugenda e Ntebe n’okudda e Kampala.

Ekola ku mbeera y’obudde bwonna, erina ggiya za ‘manual’ ne otomatiki. Okugeza mu biseera by’enkuba oba oluguudo bwe luba luseerera, kyusa bukyusa ggiya obutaseerera.

Erina 4WM. Ku bantu abaagala okuvuga sipiidi (okudduka), eggumira ku ttaka ne bw’oyingira sipiidi 160 tewunga, esigala etambula bulungi.

Nze ntabula nnyo ekiro ate olumu olw’obudde ntera okudduka sipiidi naye nga natandise, kizibu omuntu okunneepimamu.

Kusasira ng'alaga obunene bwa bbuutu y'emmotoka ye

 Prado TZ eweesa ekitiibwa bw’oba ogenda ku mikolo nga gye ntera okuyimbako teswaza, oba oli mudigize era ku bbiici oba kiraabu egenda.

Mmotoka eno ekola ku famire kuba mutuulamu abantu abawera munaana; bw’oba ozza omwana ku ssomero oba ng’oli musuubuzi oba mulimi ekuyamba kuba erina bbuutu ngazi, esobola okutikka ebintu ebiwerako.

Okwongera ku bugazi bwa buutu omenya ntebe y’emabega. Olumu bbuutu ngikozesa nga kabada mwe ntereeka engoye n’engatto eby’okukyusa nga ηηenda okuyimba ku mukolo oba nga nfunye ekizibu mu kkubo.

Sipeeya waayo mwangu wa kufuna kubanga erina bingi by’efaananya ne Toyota endala Prado TZ yassibwamu ebintu eby’enjawulo omuli ebisawo by’omukka (Air Bags) ebitangira abali munda okuyisibwa obubi ssinga eba egudde ku kabenje.

OBUZIBU Wabula ekimu ku by’oyinza okuyita ebizibu byayo ye ssaaviisi. Okwawukanako ne Prado TX, eno ssaaviisi tolina kugyosa, bw’eggwaako yingini efi irawo. Ebirala ebigikwatako Erina yingini 1KZ-TE, ya CC 2982 Eriko enzigi ttaano (5) Ttanka okujjula enywa liita 90

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...