
Kayiira mu jaketi eyakyenvu ku mmotoka ye gy'ali mu kukyusa okugifuula Pick-up
KAYIIRA omusajja amanyikiddwa ennyo mukubeera n'obwongo ssaako n'obukujjukujju oluvannyuma lw'okkola emmotoka gyeyatuuma Uganda 1 mukiseera kino azze nenkuba mpya .
Omusajja ono jjukira nti yaddamu ebibuuzo bya Bukedde ebikwatagana n'ebidduka buli lwakuna agamba nti asazeewo emmotoka ye eya Uganda 1 okugikyusa agifuula Pick-up olwensonga nti Uganda 1 gyeyakola mu 2012 ebadde terina bbuutu ate ng'ekoma ku sipiidi 120 kati kwekusalawo agifuule Pick-up kimuyambengako okutikka obulungi ebintu bwabeera atambudde olugendo oluwanvu.

Kayiira agamba nti yandibadde asobola okkola emmotoka endala ne zibeera bbiri naye yabadde talina ssente zimala kwekusalawo okukyusa eno gy'agenda okutongoza mu Aug omwaka guno.
Palamenti yasiima Kayiira olw'okubeera n'obwongo era emmotoka ye yeeyesigamizibwako okuzuula Uganda weetuuse kati mubya tekinologiya.

Yatandika okukyusa emmotoka eno mu september wa 2015 era ng'ayagala Ssabasajja Kabaka oba Pulezidenti Museveni kwekuva abeera agituuma erinnya.
Egenda kuba edduka sipiidi 180 ng’ekozesa mafuta ga Petulooli nga buli lugendo oluli mu Uganda ejja kuba etukaayo agitaddeko ekyuma ekigenda okuba kisika mmotoka endala eziba zifunye obubenje .

Mu Kiseera kino Kayiira yakakozesa obukadde 55 okuva mu nsawo ye nga wano waasabira Gavumenti oba omuzira Kisa yenna ayagaliza Uganda okugenda mu maaso amuwe ssente agimalirize nga terina ky’ebanja

EBYENJAWULO KAYIIRA BYAGENDA OKUSA KU MMOTOKA ENO
Amataala ekika kyago mapya nnyo wano Uganda Spot Lights zanjawulo zaaka ekiro n’olaba ng’emisana ye yazeekoledde Mmotoka egendako ensawo y’amanda n’amatooke agasoba 10 ,
Yingini ya CC1800 Okunywa amafuta ejja kuba enywa kitono nga buli kkiro mita 60 ejja kuba enywawo liita satu Tanka yaayo yagitadde mabega