TOP

Abakugu balaze ebirina okukolebwa okulwanyisa akanyigo mu Kampala

Added 13th October 2016

AKALIPPAGANO k'abantu , pikipiki n'ebidduka mu makkati ga Kampala kongedde okwogeza abantu ebikankana.

Akanyigo nga kano, abakugu ke baagala okumalawo.

Akanyigo nga kano, abakugu ke baagala okumalawo.

AKALIPPAGANO k'abantu , pikipiki n'ebidduka mu makkati ga Kampala kongedde okwogeza abantu ebikankana.

Kino kiddiridde ezimu ku takisi ezaali zikolera munda mu ppaaka okuddukayo ne zikolera ku nguudo eziyingiza n'okufulumya ebidduka mu Kampala ate ezifumbekeddeko abatembeeyi n'ebyamaguzi byabwe wamu ne bodaboda.

Abakugu mu byentambula y’omu bibuga balabudde nti ssinga tewaba kikolebwa kitongole kya KCCA ne minisitule y'ebyenguudo, ekibuga Kampala kigenda kifuuka kyabulabe okukitambuliramu.

Paul Kwamusi, omukugu mu byentambula y'ebidduka mu bibuga yagambye nti Kampala yeetaaga kuddamu kuteekateeka buggya balambike ppaaka za takisi, bbaasi ne siteegi za bodaboda we zirina okubeera.

Yagambye nti ekiriwo kati nga buli muntu w’asanga w’assa ebyamaguzi mu nguudo omulina okuyitwa ebidduka, bodaboda okusimba mu mbalaza z'amaduuka ne takisi okusimba buli we zisanze kiraga kudda mabega mu by'enteekateeka y'ekibuga.

Drake Mukasa naye omukugu mu byentambula y'ebidduka agamba nti bannannyini bizimbe mu Kampala, KCCA ebatiitiibya okubakkiriza ebifo omulina okusimba ebidduka by'abapangisa baabwe ate bo ne babipangisaamu amaduuka n'amaterekero g’ebyamaguzi.

Byrion Kinene, ssentebe w'ekibiina ekigatta baddereeva ba loole ekya Regional Lorry Drivers and Transporters Association yagambye nti okuggyako nga Gavumenti etandise okusengula ofi isi zaayo okuzizza mu nkingizzi z'ekibuga omugotteko gw'ebidduka gwakweyongera.

Norman Musinga, omuduumizi wa poliisi y'ebidduka mu Kampala n'emiriraano yagambye nti bbaasi bagezezzaako okuzigoba ku nguudo omuli Arua Park n'awalala, we ziva waddewo bika bya mmotoka birala omuli loole z'ebyamaguzi n'ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...