TOP

Ekikwekweto kya Fika Salaama kituuse mu Kampala

Added 9th November 2016

Akulira ekitongole kya poliisi eky’ebidduka Dr. Steven Kasiima yagambye nti ekikwekweto kya Fika Salaama kyagoba baddereeva bangi ku luguudo lw’e Masaka

 Dr. Kasiima (ku kkono) ne Musinga.

Dr. Kasiima (ku kkono) ne Musinga.

Bya ERIA LUYIMBAZI NE GEORGE BUKENYA

EKIKWEKWETO kya “Fika Salaama” ekibadde ku luguudo lw’e Masaka kituuse mu Kampala n’emiriraano nga bagenda kukwata baddereeva abatalina bisaanyizo.

Omuduumuzi wa poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, Norman Musinga yagambye nti ekikwekweto ky’omu Kampala kituumiddwa ‘Tembeya Salaama’ nga tekirina njawulo n’ekibadde ku lw’e Masaka.

“Mu kaweefube poliisi y’ebidduka gw’eriko okulaba ng’ekendeeza ku bubenje mu biseera by’ennaku enkulu ebinaatera okutuuka, tusazeewo okutongoza ebikwekweto by’okukwata abagoba abatalina bisaanyizo, emmotoka eziri mu mbeera etezikkirizisa kuba ku luguudo ne baddereeva abatagondera mateeka g’ebidduka.

”Musinga bwe yategeezezza . Yagambye nti abaserikale baalagiddwa okukwata abatalina pamiti, abatisse obubindo, abagoba ba pikipiki abavuga nga tebambadde bikoofiira, mmotoka ezitalina yinsuwa, abavuga nga boogerera ku ssimu, abayisiza mu bifo ebikyamu, ababangyibwa ssente z’engassi ( Express Penalty Scheme .EPS) n’abavuga mmotoka nga banywedde omwenge.

Akulira ekitongole kya poliisi eky’ebidduka Dr. Steven Kasiima yagambye nti ekikwekweto kya Fika Salaama kyagoba baddereeva bangi ku luguudo lw’e Masaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...