TOP

Engeri oluguudo lwa Jinja - Kamuli gye lusse abantu

Added 18th November 2016

Engeri oluguudo lwa Jinja - Kamuli gye lusse abantu

 Akabuga k’e Budhumbula omutaggwa bubenje.

Akabuga k’e Budhumbula omutaggwa bubenje.

Abatuuze ku luguudo lw’e Kamuli – Jinja olwakakolebwa beekokkodde ekitongole kya UNRA olw’okugaana okuteeka obugulumu mu bubuga obubeeramu abantu abangi ne mu masahhanzira ag’obulale, ekivuddeko obubenje obungi obusse n’okulumya abantu. Aba Dott Services baaluggyako engalo mu 2014 naye tekuggwa bubenje.

Okuva mu July w’omwaka guno, obubenje ku luguudo luno busse abantu 36 n’okulumya 53 okusinziira ku lipoota ya poliisi mu kitundu kino. Obubuga obusinze okugwamu obubenje kuliko ak’e Budhumbula, kiromita ng’emu okuva mu kibuga ky’e Kamuli.

Wano okusinziira ku ssentebe wa LC1, William Ndimukika, okuva mu 2014 emirambo gye yaakabalako giri munaana! Wano waliwo amasahhanzira abiri, agagenda ku yunivasite y’e Namasagali n’age Naigobya- Luuka era takisi zitera nnyo okutomererawo ab’ebigere n’aba bodaboda. Wano eyali ssentebe wa LC5, Kaloli Isabirye Baligeya we yafiira mu 2004 , ddereeva we bwe yali yeewoma ente eyali esala oluguudo.

Obubuga obulala obw’obulabe kuliko Busota, Butabaala, Namaira, Nawantumbi ne Buwagi. Obugulumu bwe bassa mu bubuga e Kiroba ku kyuma kya ssukaali, Kasambira, Nawanyago ne Bupadhengo bumpi, emmotoka zibubuuka bubuusi era nawo obubenje tebuggwaawo.

E Bupadhengo, obubenje gye buvuddeko bwaguddewo busatu mu wiiki emu ne buzingiramu loole z’ebikajjo nnya. Wakati w’akabuga k’e Kabukye ne Bupadhengo, (kiromita nga 20), obubenje mu budde bw’ekiro bususse olwa loole z’ebikajjo ezifiira mu kkubo ne zivaako ebidduka okuziyingirira oba okutomera abantu ababeera ku mabbali g’enguudo.

Loole ezimu zikwamira ku kkubo ne zitaataaganya entambula y’ebidduka, okusinziira kw’akulira Poliisi y’ebidduka mu kitundu, Jesca Nyanjura.Bukya ekyuma kya ssukaali kitandika, Nyanjura agamba nti obubenje bwa loole busse bangi, ng’olwasembyeyo omwezi oguwedde, ddereeva n’abasaabaze mukaaga baafiiridde Namaira, takisi bwe yayingiridde loole. Okubukendeezaako, Nyanjura yataddewo etteeka nga loole bw’ekwama n’emalawo essaawa nnya ku luguudo, Poliisi ereeta kasiringi ne bagisika.

Ddereeva ne mukama we be basasula ssente zino eziba wakati w’emitwalo 15 ne 25. Mu masahhanzira g’e Bufumba, awali olugenda e Mbulamuti ewa Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga, emmotoka mukaaga zaakafunirawo obubenje n’okutta abantu. Amasahhanzira gano gali ku kaserengeto, ava mu kyalo n’obulagajjavu bw’atasibaamu ng’ayingira kkoolansi akola akabenje.

Wano omusomesa yaakafiirawo n’omwana we ng’amutwala mu luwummula e Mbulamuti ng’ate mu July, takisi yattirawo eyali akulira eby’okusomesa ku byobulamu mu disitulikiti y’e Kamuli. Mu September, kabangali ya UNRA eyali ewerekera akulira UNRA, Allen Kagina yayambalagana ne bbaasi, basatu ne bafa n’abasoba mu 50 ne balumizibwa, kuba tewali bugulumu Ssentebe wa Budhumbula LC1, William Ndimukika yagambye nti bukyanga beegayirira UNRA ku bugulumu bakyagaanyi okubussa ku nguudo.

Yeko Nabongo owa bodaboda ku siteegi y’e Budhumbula yagambye nti okusinziira ku mujjuzo gw’abantu n’ebidduka, weetaagawo owattulafiki, awatali ekyo abantu bajja kwongera okufa. Omubaka wa Munisipaali y’e Kamuli, Hajati Rehema Watongola yagambye nti ku lw’obulamu bw’abantu b’akiikirira n’abatambuze, ajja kwetikka ekiwandiiko ky’Abataka agumbe ku ofiisi za UNRA mu Kampala wabeewo ekikolebwa.

Omubaka omukazi owa Disitulikiti y’e Tororo, Annet Nyakecho naye yagambye nti obubenje ku luguudo lw’e Tororo obusinga buva ku ndiima ng’eno eva ku kuba nti oluguudo lwonna tekuli bugulumu.

Kyokka abatuuze b’oku luguudo lwa Jinja - Kamuli wadde baagala obugulumu, Nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa yategeeza gye buvuddeko nti bakoze endagaano n’amawanga g’omukago gw’obuvanjuba bwa Afrika okuggya obugulumu ku nguudo ennene mu Uganda kubanga butaataaganya entambula y’ebyamaguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...