TOP

Lwaki Gavumenti erwana ne bannannyini bbaasi okubaggya wakati mu Kampala

Added 19th January 2017

KAWEEFUBE w’okukendeeza omugotteko gw’ebidduka mu Kampala wakati azzeemu kigoye weezinge bannannyini bbaasi bwe bagaanye okuzitwala mu ppaaka ezeesudde wakati mu kibuga nga e Nateete n’e Nakawa ng’ekitongole kya KCCA bwe kyali kisazeewo.

 Omujjuzo mu ppaaka ya bbaasi mu Kampala, KCCA gw’eyagala okwewala.

Omujjuzo mu ppaaka ya bbaasi mu Kampala, KCCA gw’eyagala okwewala.

Bya GEORGE BUKENYA ne PONSIANO NSIMBI

KAWEEFUBE w’okukendeeza omugotteko gw’ebidduka mu Kampala wakati azzeemu kigoye weezinge bannannyini bbaasi bwe bagaanye okuzitwala mu ppaaka ezeesudde wakati mu kibuga nga e Nateete n’e Nakawa ng’ekitongole kya KCCA bwe kyali kisazeewo.

Minisita wa Kampala gye buvuddekmo yalagira bannannyini bbaasi baziggye mu kibuga wakati bazitwale mu ppaaka ezizimbiddwa mu bitundu ebyesudde amasekkati ga Kampala nga e Natete, Nakawa, Kawempe n’awalala.

Ekiragiro kino kyalina okussibwa mu nkola, ekitongole ekivunaanyizibwa ku kugaba layisinsi z’ebidduka ebisaabaza abantu ekya Transport Licensing Board (TLB).

 paaka ya bbaasi eye ateete gye baazimba okusenguliramu bbaasi ezidda e ugwanjuba kati basambiramu mupiira Ppaaka ya bbaasi ey’e Nateete gye baazimba okusenguliramu bbaasi ezidda e Bugwanjuba kati basambiramu mupiira.

 

Okusinziira ku kiragiro, bbaasi zaalina okuggyibwa mu Kampala wakati okutandika n’omwezi oguwedde naye kino tekyassibwa mu nkola.

Bannannyini bbaasi abamu baakoze ppaaka zaabwe mu Kampala wakati, kuno kuliko aba kkampuni ya Link eyakoze eyaayo mu Kisenyi okuliraana ey’omugagga Muwonge eya Kisenyi Bus Terminal ate nnannyini Global Coaches naye yakoze eyiye e Kampalamukadde.

Bbaasi ezaggyibwa mu ppaaka ya Qualicel zaatwalibwa mu ya Kisenyi n’eya Link era maneja wa Kisenyi Bus Terminal Billy Tamukedde yagambye nti okusooka ppaaka ebadde esimbamu bbaasi 162 kati musimbamu bbaasi 362.

Ate akulira eby’okubudaabuda abasaabaze mu kkampuni ya Link, Oscar Mulungi agamba mu paaka yaabwe musimbamu bbaasi 50.

Kino kitegeeza nti kaweefube w’ekitongole kya KCCA ne minisitule evunaanyizibwa ku bya Kampala okukendeeza omugotteko mu kibuga akyalemye kubanga bannannyini bbaasi baajeemye okussa ekiragiro mu nkola.

Amyuka akulira Kampala, Andrew Kitaka yagambye nti ppaaka za bbaasi zirina okubeera wakati wa kiromita 5 ne 10 okuva ku kitebe kya Posita ekiri ku Kampala Road era paaka erina okuba ku bugazi bwa yiika 5 ku 10 nga lirina okuba nga lya kyapa kuba basuubira ppaaka zino okuba ez’enkalakkalira.

Ekirala ppaaka erina okuba n’emiryango ebiri mmotoka we zifulunira ne we ziyingirira, nga gya mmita 10 obugazi ate nga w’ezimbiddwa tesussa mmita 500 okuva ku luguudo mwasanjala.

Omuwandiisi w’akakiiko akagaba layisinsi, Winston Katushabe yagambye nti okuteeka ekiragira kya minisita mu nkola obulungi, ppaaka ezizimbibwa zonna ku nguudo ezifuluma Kampala zirina okuba nga zonna ziwedde.

Katushabe agamba nti ppaaka emu eyeesudde amasekkati g’ekibuga yokka ye yakaggwa era tesobola kumalawo bbaasi zonna ezigenda ebugwanjuba.

Omwogezi w’olukiiko oluddukanya ppaaka y’e Nateete, Edgar Lwanga yagambye nti ekitongole kya KCCA kyabakaka okulongoosa ppaaka era ne bakikola, era akakiiko ka KCCA akavunaanyizibwa ku nteekateeka y’okukulaakulanya ekibuga ne kagiyisa ng’emu ku ppaaka ezirina ebisaanyizo.

“Kyokka wadde kino twakikola, bbaasi zaagaana okujja mu ppaaka yaffe, bamakanika abakanikira mmotoka okiriraana ppaaka eno bazannyiramu mupiira. Bukya ppaaka eyisibwa, twalowooza nti tujja kuzza ku ssente ezaagizimba naye tekinnasoboka,” Lwanga bwe yagambye.

Ekitongole kya KCCA kyatuuka ku nzikaanya ne bannannyini ppaaka y’e Nateete oluvannyuma lw’akakiiko k’ekitongole akavunaanyizibwa ku kutegekera ya Kampala okugiyisa ng’emu ku ku ppaaka ezirina ebisaanyizo.

Bakkaanya nti bbaasi ezikwata ku lw’e Masaka n’oludda e Mubende zidde mu ppaaka eno.

 

Aba bbaasi bye bagamba

Abdul Busulwa, maneja wa kkampuni ya Bismarkan agamba nti enteekateeka eno bajaaniriza naye egenda kubakosa nnyo kubanga amasekkati ga Kampala mwe muli ebyobusuubuzi eby’amaanyi nti kino kitegeeza abasaabaze naddala abasuubuzi bagenda kuba bakozesa ssente nnyingi.

“Omusuubuzi ava e Masaka, luli abadde asuubula mu Kikuubo nga bbaasi zimuli kumpi. Kati alina okusooka okutikka ebyamaguzi ku takisi oba kabangali okubituusa e Nateete alyoke abisse ku bbaasi. Kino kitwala ssente nnyingi,” bwe yagambye.

Alex Tumukunde, maneja wa Swift Safaris, agamba nti eno enteekateeka ya KCCA enyigiriza aba bbaasi abatalina ppaaka mu makkati ga Kampala nti era kigenda kuba kizibu KCCA okugituukiriza kubanga bannannyini bbaasi abaazimba ppaaka zaabwe mu masekkati g’ekibuga tebagenda kukkiriza kubatwala mu ppaaka endala ezeesudde ekibuga wakati.

Okusinziira ku nteekateeka ya KCCA, bbaasi ezikwata ku lw’e Jinja zirina okugenda mu ppaaka y’e Nakawa, ezigenda mu mambuka g’eggwanga ppaaka yaazo erina kubeera Kawempe.

KCCA era eyagala kuzimba ppaaka e Bwaise ne mu Namanve wansi wa kaweefube ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...