TOP
  • Home
  • Jjajja
  • Abaagala pamiti kompyuta ze zinaabagezesa

Abaagala pamiti kompyuta ze zinaabagezesa

Added 17th May 2018

Abaagala pamiti kompyuta ze zinaabagezesa

 Katushabe ng’annyonnyola ku nkola empya.

Katushabe ng’annyonnyola ku nkola empya.

OKUGEZESA abantu ababa baagala okufuna pamiti n’okukoonamu kkiraasi kugenda kukyuka nga kati Gavumenti egenda kukozesa kompyuta okugezesa baddereeva. Enkola ebaddewo ng’omuserikale w’ebidduka y’agezesa omugoba ng’amulabako awo. Wabula kyazuuliddwa ng’enkola eno erimu emiwaatwa ng’abamu ku baddereeva batuuka okufuna pamiti nga tebayise mu kugezesebwa, ekivuddeko abantu abatasaanidde okufuna pamiti ne kyongera obubenje mu ggwanga.

ENKOLA EJJA

Winstone Katushabe, kaminsona mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula avunaanyizibwa ku mateeka g’ebidduka yagambye nti, Gavumenti mu myaka ebiri esuubira okuba ng’emalirizza okuzimba ekifo omugenda okuteekebwa tekinologiya agezesa baddereeva.

Abakorea be bagenda okuleeta tekinologiya ono. Mu kugezesa okupya, ddereeva ayingira yekka mmotoka olwo n’atandika okuvuga nga kompyuta y’emuwa ebiragiro, bw’abituukiriza ng’emuwa obubonero ate ebusala ssinga akola bubi.

Obubonero buno eba ebuweereza butereevu mu kasenge akalimu kompyuta kwe balabira obubonero bw’ofunye ‘Control room’. Ku bubonero bw’ekuwadde kwe kugenda okusinziirwa omuntu okuyita n’okufuna pamiti oba okugwa n’addayo mu ttendekero ly’abavuzi b’ebidduka okubangulwa n’akomawo okugezesebwa oluvannyuma. Katushabe ayongerako nti, kino kigenda kuyambako mu kutuukiriza kaweefube wa Gavumenti gw’eriko ow’okutuukiriza ekigendererwa ky’okukendeeza obubenje ku nguudo mu nteekateeka y’ekitongole ky’Amawanga Amagatte ekya United Nations, okukendeeza obubenje nga bayita mu kubangula baddereeva.

Min Bong Kwen, omu ku Bakorea yagambye nti, mu nkola eno tewali ngeri yonna ddereeva gy’ayinza kufunamu pamiti nga tagezeseddwa kubanga abagaba pamiti kompyuta erina okusooka okubaweereza obukakafu nti agezeseddwa era n’ayita ate nga kino kijja kusoboka nga kompyuta esoose kukugezesa.

Kwen yayongeddeko nti, bagenda kukuhhanya byonna ebibadde bisomesebwa mu kutendeka baddereeva mu matendekero agayigiriza okuvuga mmotoka babigatte mu nteekateeka gye bazze nayo okulaba nga tewabaawo kunyigirizibwa mu kugezesa n’okumalawo baddereeva okwekwasa nti kompyuta okugezesa kw’ebawa kuzibu nga bbo tebaabibayigiriza mu kutendekebwa.

Mu kino, kompyuta esobola okukuwa obubonero mu ngeri gy’osimbula n’okusiba, odda otya emabega?

Oyisa otya? n’ebintu ebirala. Katushabe yagambye nti, enkola eno egenda kumalawo embeera ebaddewo abantu okutuula awaka ne bafuna pamiti nga n’abamu tebalina bukugu, wabula okuteekamu ssente ne bazibagoberako. Okusinziira ku lipoota ya poliisi abantu abasukka mu 3,000 be bafiira mu bubenje kunguudo buli mwaka ng’obumu kuva ku baddereeva okubeera ab’ekibogwe wadde nga waliwo ensonga endala ezibuleeta.

Franklin Kugonza, akulira poliisi eyeekebejja ebidduka n’okugezesa baddereeva mu ggwanga, ekya Inspector of MoWaliyotor Vehicles (IOV) yagambye nti, enkola eno yaakwongera omutindo gwa baddereeva mu ggwanga oba oli awo n’okukendeeza ku bubenje olwa baddereeva abatalina bukugu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...