TOP

Isuzu yeetaaga makanika omukugu

Added 18th October 2018

Isuzu yeetaaga makanika omukugu

ROBERT Mudhasi yagula emmotoka ekika kya Isuzu Wizard era yali akyagyeyagaliramu, n’etandika okulaga obubonero nti etandise okufuna obuzibu. Mu bbanga lya mwaka gumu n’ekitundu, mmotoka eno yazikira lumu era teyaddamu kwaka. Olw’okwagala mmotoka ye, Mudhasi yasalawo okugissaamu ssente n’atuukirira bamakanika ab’enjawulo naye buli eyagikwatako yamulema okutereeza.

Nga wayise ebbanga lya myaka ebiri, Mudhasi yagenda ku yintaneeti n’agwa ku kibiina kya bamakanika ba mmotoka za Isuzu n’akwatagana ne Nelson Wanyonyo eyamuyamba okukanika mmotoka eno.

Kikyamu ki ekiri ku Isuzu Wizard? Okusinziira ku Wanyonyo, mmotoka yali eteekebwamu woyiro omukyamu era nga kino kyayonoona ‘nozo’ era nga tezeggula okusobozesa mmotoka okwaka. Agamba nti ne ggiyabookisi yali eyonoonese olwa woyiro gwe bakozesa omukyamu.

Annyonnyola nti ne ppampu y’amazzi yali eyonoonese era ng’amazzi gaagenda nga mu yingini ne kigikosa. Obuzibu bamakanika bwe baasanga Wanyonyo agamba nti mmotoka ez’ekika kya Isuzu zirina ‘injecter pump’ esika woyiro okuva mu yingini ng’eyita mu ppampu olwo n’agenda mu ‘nozo’.

Yingini z’emmotoka zino zikozesa ‘woyiro pulesa’ okusobozesa mmotoka okwaka. Kino kitegeeza nti, mmotoka eno buli lw’eba egenda okwaka, ddereeva alina okukebera oba nga erina ‘woyiro pulesa’ amala era afeeyo okumanya oba ekika kya woyiro alimu kituufu.

Ebintu bino bamakanika abaasooka okugikanika tebaabimanya ne bafuna obuzibu bw’okugyakisa. Agamba nti ebintu bino makanika asobola okubimanya ng’akozesa kompyuta ate ng’amanyi okugikozesa.

Wanyonyo agamba nti Isuzu eno eyawukana ku mmotoka endala era ng’eno erina ‘tayimingi’ ya mirundi ebiri mu maaso n’emabega. ‘Tayimingi’ ey’emabega eyamba okwasa emmotoka ate ey’omu maaso eyamba amafuta g’emmotoka okulinnya ne gatambula mu yingini olwo mmotoka n’esobola okutambula. ‘Tayimingi’ zino zonna zikolera wamu olwo mmotoka n’esobola okutambula obulungi. Kino bamakanika abasing tebakimanyi.

Bangi balemererwa ne bakyusa yingini nga balowoza nti y’eriko obuzibu. Agamba nti mmotoka nga Isuzu Wizard zirina ‘full common rail oil’ yingini ng’eno erina ‘nozo’ munda ate nga mmotoka endala zirina ‘semi common rail’. ‘Full common rail’ yingini ebeera n’ekifo (central unit) amafuta mwe gava ne gayita mu ‘ppampu’ ne gagenda mu ‘nozo’ ku maanyi ga pulesa ey’amaanyi ne gatuuka buli wamu we galina okutuuka okusobozesa mmotoka okutambula.

Kola saaviisi mu kifo ekituufu Wanyonyo agamba nti bwe kituuka ku kukola saaviisi, makanika alina okumanya ekintu ekituufu ky’alina okukola. Alina okumanya woyiro omutuufu ow’okukozesa nga ono alina kuba woyiro omuwewufu sso ssi omukwafu, ono ayonoona yingini w’emmotoka ya Isuzu era nga woyiro omuwewufu, asobozesa yingini okukola amangu. “Isuzu zirina yingini erina ‘nozo’ munda.

Woyiro azitowa ayonoona ‘nozo’ ezo ne zitasobola kukola mulimu gwazo ne zikutuka,”Annet Kasozi Makanika bw’annyonnyola. Gula sipeeya ali ‘origino’ Kasozi agamba nti omuntu yenna agamba nti mmotoka za Isuzu zeetaaga sipeeya ali ‘origino’ era nga omuntu buli lw’akozesa sipeeya omucupule tafuna ky’ayagala anti buli kaseera abeera agenda mu galagi.

Agamba nti mmotoka bw’eba eri mu mbeera nnungi, esobola okutambula kkirommita 1,000. Ate ‘radiator’ n’etambula kkirommita 6,000 olwo n’olyoka okyusa.

Ate bwe kituuka ku yingini, osaanidde okufuna makanika ategeera ebya yingini nga tagenda kukola nsobi oba kugezesa yingini yo okugiyigirako okukanika. Wanyonyo agamba nti bamakanika abasinga mu Uganda, baakuguka mu kukanika mmotoka za Toyota nga beetaaga okukuguka mu kukanika Isuzu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....