TOP

UNBS ezzeemu okwekebejja mmotoka enkadde nga tezinnatikkibwa ku mmeeri

Added 14th March 2019

OLUVANNYUMA lw’ebbanga erikunukkiriza mu mwaka ng’enkola y’okusooka okwekebejja ebidduka mu mawanga gye biva nga tebinnatikkibwa ku mmeeri okujja mu Uganda okuyimirizibwa, ate ezzeemu okuttukizibwa.

 Mmotoka enkadde mu bibanda byazo nga kati zirina okusooka okwekebejjebwa nga tezitikkibwa ku mmeeri okuleetebwa mu Uganda.

Mmotoka enkadde mu bibanda byazo nga kati zirina okusooka okwekebejjebwa nga tezitikkibwa ku mmeeri okuleetebwa mu Uganda.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw'ebintu mu ggwanga ekya UNBS nga kye kikola ne ku nteekateeka eno kibadde kyagiyimiriza okuvannyuma lwa kontulakiti ze kyali kikoze ne kkampuni essatu ezaali zipataniddwa okukola omulimu guno okuggwaako.

Kino kyajjira mu kiseera nga palamenti yali ezinoonyerezaako ku bigambibwa nti zaalina ebitali biruηηamu mu nkola yaazo ey'emirimu.

Kino kyawaliriza akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku by'obusuubuzi okwesitula okugenda mu mawanga omuli; Japan ne Dubai awasinga okuva mmotoka enkadde eziyingira mu ggwanga okubuuliriza ku bigambibwa nti enkola yaazo yaliko akabuuza.

Okuva nga June 1 omwaka oguwedde mmotoka zonna enkadde eziyingizibwa mu ggwanga zibadde tezisooka kwekebejjebwa nga bwe kyali nga tezinnatikkibwa ku mmeeri wabula nga zeekebejjebwa zimaze kutuuka mu Uganda mu bibanda bya mmotoka nga zigenda okusasulira omusolo mu URA n'okussibwako nnamba.

Ekiwandiiko ekyafumiziddwa UNBS wiiki ewedde kyalaze enteekateeka y'okwekebejjera ebidduka ebikadde ebiva mu mawanga bw'egenda kuddamu okuva nga March 15 omwaka guno.

Mmotoka eziva mu Japan okuzeekebejja zaakusasulirayo ddoola 140, mu Singapore 200, Bungereza 200, Dubai 120 Saudi Arabia 220 nga mu mawanga amalala agatamenyeddwa zaakusasula 140.

UNBS mu kiseera ky'ezze nga yeekolera omulimu guno ogw'okwekebejja ebidduka ebiba biyingiziddwa mu ggwanga era nga kabadde kakwakkulizo nga tezinnawandiisibwa mu URA okufuna nnamba puleeti nga buli emu esasula 140 (mu za Uganda nga 500,000/-.

Kkampuni bbiri zokka omuli eya EAA Co. Ltd ne Jabal Kirimanjaro Auto Elect Mech kati ze zokka ezikyavunaanyizibwa ku kwekebejja ebidduka bino mu mawanga gye biva.

Wabula abali mu mulimu gw'okusuubula mmotoka mu kibiina ekibagatta ekya Associated Motor Dealers 2015 bagamba nti wakyaliwo okunyigirizibwa mu ssente zino kuba nnyingi nnyo okusinziira ku bikolebwa nga zeekebejjebwa.

Francis Kanakulya omwogezi w'ekibiina kino agamba nti gavumenti okunyigiriza abantu okwekebejja ebidduka bino mu mawanga g'ebweru ku ssente ennyingi ate nga mu Uganda mulimu ebyuma eby'omulembe ebisola okukola omulimu gwe gumu ku ssente entono.

Yasabye UNBS okwongera obulambulukufu ku ngeri y'okwekebejja ebidduka ne ku kusalawo kkampuni ezigenda okukola omulimu guno era n'ensonga lwaki kkampuni ya JEVIC ebadde emanyiddwa lwaki teyazzeemu kulondebwa.

URA n’okussibwako nnamba. Ekiwandiiko ekyafumiziddwa UNBS wiiki ewedde kyalaze enteekateeka y’okwekebejjera ebidduka ebikadde ebiva mu mawanga bw’egenda kuddamu okuva nga March 15 omwaka guno. Mmotoka eziva mu Japan okuzeekebejja zaakusasulirayo ddoola 140, mu Singapore 200, Bungereza 200, Dubai 120 Saudi Arabia 220 nga mu mawanga amalala agatamenyeddwa zaakusasula 140. UNBS mu kiseera ky’ezze nga yeekolera omulimu guno ogw'okwekebejja ebidduka ebiba biyingiziddwa mu ggwanga era nga kabadde kakwakkulizo nga tezinnawandiisibwa mu URA okufuna nnamba puleeti nga buli emu esasula 140 (mu za Uganda nga 500,000/-. Kkampuni bbiri zokka omuli eya EAA Co. Ltd ne Jabal Kirimanjaro Auto Elect Mech kati ze zokka ezikyavunaanyizibwa ku kwekebejja ebidduka bino mu mawanga gye biva. Wabula abali mu mulimu gw'okusuubula mmotoka mu kibiina ekibagatta ekya Associated Motor Dealers 2015 bagamba nti wakyaliwo okunyigirizibwa mu ssente zino kuba nnyingi nnyo okusinziira ku bikolebwa nga zeekebejjebwa. Francis Kanakulya omwogezi w'ekibiina kino agamba nti gavumenti okunyigiriza abantu okwekebejja ebidduka bino mu mawanga g'ebweru ku ssente ennyingi ate nga mu Uganda mulimu ebyuma eby'omulembe ebisola okukola omulimu gwe gumu ku ssente entono. Yasabye UNBS okwongera obulambulukufu ku ngeri y'okwekebejja ebidduka ne ku kusalawo kkampuni ezigenda okukola omulimu guno era n'ensonga lwaki kkampuni ya JEVIC ebadde emanyiddwa lwaki teyazzeemu kulondebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...