TOP
  • Home
  • Agafa kubidduka
  • Abakinjaaji basobeddwa ebya Basajjabalaba okuddamu okwezza lufula y'oku Port Bell

Abakinjaaji basobeddwa ebya Basajjabalaba okuddamu okwezza lufula y'oku Port Bell

Added 26th November 2014

ABAKINJAAJI mu lufula y’oku luguudo lwa Old Port Bell baavudde ku kkooti nga batabuddwa oluvannyuma lw’okukitegeera nti Dan Kwatampola eyali yabatwala mu kkooti ate liizi gye yali yafuna ku Basajjabalaba yagimuddiza.

Bya HERBERT MUSOKE

ABAKINJAAJI mu lufula y’oku luguudo lwa Old Port Bell baavudde ku kkooti nga batabuddwa oluvannyuma lw’okukitegeera nti Dan Kwatampola eyali yabatwala mu kkooti ate liizi gye yali yafuna ku Basajjabalaba yagimuddiza.

Abakinjaaji abaakedde ku kkooti y’obusuubuzi etuula ku Twed Towers mu maaso g’omulamuzi Andrew Byabashaiza okuwuliriza omusango gwabwe bavudde mu kkooti nga beewuunaganya Basajjabalaba
ng’ayita mu kkampuni ye eya Basajjabalaba Hides & skin Ltd okuddamu okutwala liizi y’ettaka okuli lufula yaabwe.

“Kirabika nga Basajjabalaba aliko k’abala okututabulatabula oba alabika ayagala kukozesa lukujjukujju okuwamba lufula yaffe naye tugenda kusigala nga tuli beetegefu okwang’anga kyonna ekinaggya
era nga tugenda kusigala nga tulindirira okusalawo kwa kkooti okulaba kyetuzaako”, ssentebe w’abasuubuzi, Abbey Mugumba bw’agamba.

Kwatampola abadde agamba nti ye nnaannyini liizi y’ettaka okuli lufula eno yali yatwala abakulembeze b’ekibiina kya City Abattoir Traders and Development Association (CATIDA) 16 ne Loodi Meeya Erias Lukwago ng’abamuvunaana okusaalimbira ku ttaka lwe yasindika ekibinja kya bakanyama ne kiggala lufula ate abasuubuzi nga bakulembeddwaamu Loodi meeya Lukwago n’abakulembeze baabwe ne bamenya kkufulu.

Okusinziira ku looya w’abasuubuzi Chrizestom Katumba, Kwatampola eyali avunaana abasuubuzi okuddiza Basajjabalaba liizi kiba kitegeeza nti tewakyali musango gwonna ekireka abasuubuzi mu
bbanga n’okuwa Basajjabalaba omwaganya okukola emivuyo gye kuba yayagala dda okweddiza ettaka lino.

“Twagala okuddayo tuddemu okweteekateeka okuggula ku Basajjabalaba omusango kuba bwe kiba nga ye yatutteliizi ebadde eya Kwatampola, kiba  kitegeeza nti y’alina obuvunaanyizibwa obw’enkomeredde,” Katumba bwe yagambye.

Ssentebe wa KATIDA, Abbey Mugumba yagumizza abakinjaaji n’agamba nti bino byonna bukodyo bwa Basajjabalaba okwagala okubba ettaka lyabwe wabula tebagenda kumukkiriza kuba emivuyo gyonna egiriwo mu kiseera kino ye yagireeta.

Omulamuzi yayongezeeyo omusango okutuuka nga December, 2,014 era n’ategeeza oludda lw’abakinjaaji okuba nga lumaze okufuna obukakafu nti ddala Basajjalabaja ye nnannyini liizi kati n’okusalawo ekigenda mu maaso.

Abakinjaaji basobeddwa ebya Basajjabalaba okuddamu okwezza lufula y’oku Port Bell

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...