TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Lwaki Bannayuganda bagulumiza ebimenya amateeka?

Lwaki Bannayuganda bagulumiza ebimenya amateeka?

Added 22nd October 2016

WIIKI eno mu Kampala, olutalo lubadde lwa maanyi ku nguudo ng’abalina amaduuka ku bizimbe balwanagana n’abatembeeyi abaagala okuyiwa emmaali yaabwe ku nguudo okukwata bakasitoma abatambula.

Ono yasangiddwa ku luguudo olutwala mmotoka emu ng'avuga kifuulannenge. Aba bodaboda mu kumenya amateeka g'ebidduka mu Uganda bakwata kisooka!

Ono yasangiddwa ku luguudo olutwala mmotoka emu ng'avuga kifuulannenge. Aba bodaboda mu kumenya amateeka g'ebidduka mu Uganda bakwata kisooka!

Bya John Weeraga

...........................................................................................................

WIIKI eno mu Kampala, olutalo lubadde lwa maanyi ku nguudo ng’abalina amaduuka ku bizimbe balwanagana n’abatembeeyi abaagala okuyiwa emmaali yaabwe ku nguudo okukwata bakasitoma abatambula.

Mu Kampala okupangisa edduuka mu kizimbe olina kusasula mu ddoola, ezitali ntono nno kuba omwezi osasula eziri wakati wa 460 ( 1,500,000/-) ne 2,400 ( 8,000,000/-) okusinziira kizimbe ki na wa we kiri n’obunene bw’edduuka.

Eri omugenyi mu Uganda zino ssente ntono, naye ku kanyigo k’ebyenfuna ke tulimu, n’okuba ng’omupangisa alina kusasula myezi mukaaga, ate awamu mwaka mulamba olaba nga kabiga kennyini.

Kale abaamaduuka balwana n’abatembeeya emmaali eno kubanga omuntu tomusuubira kuyingira dduuka kugulayo kintu ekiri ne ku lubalaza, kabekasinge nga kiri na ku ssente entono okusinga eky’edduuka.

Naye ekisinga okwewuunyisa kwe kuba ng’abatembeeyi, abamanyidde ddala nti bamenya mateeka bandikaladde, ne balwanyisa poliisi n’abaserikale ba KCCA ng’ate bakimanyi nti be bali mu nsobi!

Nankulu w’ekibuga Jennifer Musisi bwe yali yaakajja mu Kampala kumpi emyaka etaano egiyise yabassaako akazito, era ebikwekweto bye yakola byaleka Kampala anyirira, ng’ayitikamu, ng’atangadde era nga yeegombesa.

Naye bannabyabufuzi abaagala okufuna obululu bwe baabiyingiramu, ne bawagira abatembeeyi okusigala ku nguudo, ne batandika n’okubuuza wa gye banaalya nga babagobye mu butale ng’aka Parkyard n’obulala obwali bumenyeddwa mukaziwattu naye n’abiggyamu enta.

Wiiki w’eggweereddeko nga n’abaamaduuka nabo batandise okuggya emmaali mu maduuka gaabwe, nabo bagiyiwa ku nguudo, nti olwo zaabike emipiira.

Naye kino tekyewuunyisa kubanga Bannayuganda batiitiibya nnyo abamenyi b’amateeka. Okugeza Nankulu Jennifer Musisi yali aweze bodaboda mu Kampala ng’ayagala musigalemu ntono nnyo kubanga abavubuka abazivuga bangi tebalina pamiti, banywa omwenge gw’obuveera nga bavuga olwo ne bavaako obubenje obutaggwa.

Owa takisi ng'ayisizza mu kkoono ly'oluguudo lwa Bombo

 

Kyokka era bannabyabufuzi ababaza akalulu baamulemesa. Kati buli w’oyita bodaboda zibugira ku ludda kwe zitalina kuyita, n’omala okoonako omu nga bonna bakuyiikira, bayinza okukufuntula agakonde bw’otowonga nnyo osobola okukkirira e Kaganga!

Ekibi ekiriwo nti naffe ne bwe tubalaba nga bavuga tebalina bikoofiira, bavuga banuusa obuveera bwa walagi, nga bodaboda terina butaala oba nga bayita we batalina kuyita tubakubira bukubizi mu ngalo, ne tusaakaanya n’okubasaasira nga bwe banoonya amata g’abaana nga biggwa. Tukuza baana ki!

Era eno ye wiiki musajjamukulu e Busiwu mu Bukedi gye baamutadde mu kkooti y’ekyalo ne bamuwa emyezi esatu ng’akyamuse nti olw’okuba mulogo! Ssentebe w’ekyalo n’abataka bakimanyi nti kye bakola kimenya mateeka, era nti si be balina okugaba ekibonerezo ng’ekyo naye era baakikoze. Kati olwo musajja wattu ne famire ye bakole ki?

Jjuuzi ne bano abavuga empanka baabadde basitudde enkundi, nga bakukusa obutabo obuyigiriza ebintu ebyo mu masomero, era aba Greenhill e Makindye baabitebezza mu minisitule y’ebyenjigiriza. Naye tolowooza nti babikola tebamanyi, emyaka ebiri egiyise abavuzi b’empanka abakulemberwa Namakula Katende Aisha n’omulala Hadija Namigadde baddukira  Girimaani eyo bwe baabulako katono okubakwata nga bakuba enkung’aana mu nkukutu ezigezaako okuyigiriza abawala abato empisa zaabwe envundu!

Bano ne bannaabwe abalala okuli Sadat Luutu ali e Bufalansa, Rebecca Mulondo e Bungereza, ne John Bukenya naye e Bungereza ekirungi poliisi ekyabanoonyerezaako era omwogezi waayo, AIGP Felix Kaweesi yagambye nti babawuliza, we babafunira baakubitebya.

Mu Uganda okutwalira amateeka mu ngalo kyabulijjo, ndowooza lwakuba poliisi erwawo okukola ku bagamenya. Lipooti ya poliisi ey’omwaka oguwedde eraga nti mu 2014 abantu 582 be baakosebwa olw’abantu okutwalira amateeka mu ngalo; mu 2015 baali 601 ate kibalirirwa nti buli lunaku abantu 1.6 be bakosebwa olw’abantu okutwalira amateeka mu ngalo.

Akwata mukazi we ng’ayenze ayagala kusooka kumukuba kakumbi ku mutwe; olwa poliisi okulemererwa okukola ku kibbattaka kati abapunta ne bannannyini ttaka abagenda okulambula ettaka bakuba bakube, awamu babasse. 

Ku nguudo osanga aba takisi batikkira mu luguudo wakati, abasaabaze be beesabira ddereeva avuge endiima, n’okuyisiza mu makoona wadde kimenya mateeka kyabulijjo.

Ekirina okukolebwa ye poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe okussaayo omwoyo mu kukwasisa amateeka, babeere benkanya eri buli omu olwo n’abantu lwe banaabassaamu obwesige.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...