TOP
  • Home
  • Agafa ku bidduka
  • Abakwatibwa mu Fika salama balaajanye ku babaggyako enguzi mu kusasula engassi

Abakwatibwa mu Fika salama balaajanye ku babaggyako enguzi mu kusasula engassi

Added 27th October 2016

Winstone Katushabe, omuwandiisi wa TLB mu kiwandiiko eri abaddukanya ppaaka za bbaasi ne bannannyini zo yagambye nti, enkyukakyuka zino zigenda kutandika December 1, 2016.

 Abapoliisi y’ebidduka nga balaga kkamera ezikozesebwa okukwata abavuga endiima.

Abapoliisi y’ebidduka nga balaga kkamera ezikozesebwa okukwata abavuga endiima.

Bya Samuel Balagadde

BADDEREEVA b’ebidduka bongedde okusattira olw'ebikwekweto bya tulafiki n'ekitongole ky'ebyenguudo ekya UNRA ebifuuza abatalina bisaanyizo ssaako mmotoka ziganyegenya.

Bagamba nti, oluusi abatulafiki ku nguudo ezimu naddala ku lw'e Masaka basusse obukambwe ng'ebiseera ebimu bwe balaba olina ebisaanyizo ebisinga beekwasa bintu birala.

"Mmotoka ze tuvuga mu Uganda ezisinga nkadde era tezisobola kubulwako bikyamu ng'omuserikale obutakukwata aba akuyambye.

Poliisi esaana ebeereko ebintu by’ennyonnyola ku kidduka nga bwe kirina okubeera nga tennatukwata", Francis Magezi ddereeva wa takisi ku lw'e Masaka bwe yagambye.

Ekirala agamba nti, bayita mu buzibu mu kusasula engassi mu bbanka ng'ebiseera ebimu abantu be beeyambisa okubasasulira ssente zino mu bbanka beeyambisa ogw'okuba nga bali mu busibe okubaggyako ssente endala.

William Busuulwa, ssentebe w'ekibiina ekigatta bannannyini loole ezisaabaza ebyamaguzi ekya Uganda National Transporters Agency (UNATA) agamba nti, okwewala enguzi ku kkooti, Gavumenti erina okulaba ng'essaawo enkola y'okusobozesa abasibe okwesasulira ssente z'engassi nga bali mu kkomera nga zigenda butereevu mu bbanka.

Agamba nti, bangi ku baddereeva abakwatibwa nga tebaliiko bantu baabwe ate nga balina ssente z'okusasula engassi naye bagwa mu buzibu okuva mu bannakigwanyizi ababaggyako ssente ezisusse.

Fika Salama kyakayingiza obukadde 500 Ekikwekweto kya Fika Salama kyassibwawo okukendeeza ku bubenje obwali bususse. Wakati wa January ne June omwaka guno, abantu abasukka mu 100 be baali baakafiira ku luguudo lw’e Masaka, wabula okuva ekikwekweto lwe kyatongozebwa nga August, 2016, obubenje obwakagwawo butono.

Dr. Stephen Kasiima, akulira poliisi y'ebidduka n'okulwanyisa obubenje ku nguudo agamba nti, baddereeva babadde batandise okwebalama ebifo we bakeberera ebidduka nga bayita mu buwenjuwenju ate abalala bakendeeza endiima nga banaatera okubatuukako.

Agamba nti, ekikwekweto kino baakyongeddemu ebirungo nga kati bakozesa kkamera okukuba ebifaananyi ne zibiweereza ku ‘whats app’ olwo abaserikale ababeera mu maaso ne baziyimiriza.

Ebivudde mu Fika Salama Okusinziira ku bituukiddwaako, ebyali byogerwa nti oluguudo lwakolebwa gadibengalye biraga nti bibadde bya bulimba. John Bosco Sejjemba akulira ebikwekweto mu kitongole kya UNRA, agamba nti, ekikwekweto kino kitandikiddwa ne ku nguudo endala wonna mu ggwanga.

Baddereeva abakunukkiriza mu 3,000 be baakakwatibwa bukya kikwekweto kino kitandika Bya Samuel Balagadde BANNANNYINI bbaasi n’abaddukanya ppaaka zaazo mu Kampala basobeddwa oluvannyuma lw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka ebisaabaza abantu mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) okwawula bbaasi okusinziira ku nguudo gye zikolera.

Kino kyakoleddwa okwongera okukendeeza akalippagano k’ebidduka mu Kampala akabadde kasinga okuva ku bbaasi eziba ziyingira n’okufuluma ppaaka ez’enjawulo.

Ppaaka ya Qualicel Bus terminal mu masekkati ga Kampala ey’omugagga Drake Lubega esinga okubeeramu bbaasi yalekeddwa kukoleramu bbaasi ezidda mu Buvanjuba bw’eggwanga okuli: ez’e Jinja, Mbale, Soroti, Moroto n’okweyongerayo.

Bbaasi ezidda mu bugwanjuba omuli ezidda e Masaka, Mbarara, Rukungiri, Kabale, Kisoro n’ebitundu ebyetoolodde zazziddwa mu Kisenyi Bus terminal. Bbaasi zonna ezidda mu mawanga ag’omulirano omuli: Kenya, Juba, Rwanda, South Sudan, Burundi n’okweyongerayo zazziddwa mu ppaaka ya Namayiba nga kuliko n’ezidda Hoima ne Masindi.

Winstone Katushabe, omuwandiisi wa TLB mu kiwandiiko eri abaddukanya ppaaka za bbaasi ne bannannyini zo yagambye nti, enkyukakyuka zino zigenda kutandika December 1, 2016.

Wabula yagambye bannannyini bbaasi ezikwatibwako balina okusaba mu buwandiike eri abaddukanya ppaaka mwe bagenda okudda era batwale okuddibwaamu nga bakakasa okubakkiriza eri TLB.

Bbaasi zonna zirina okubeera mu mannya g’abo abassaayo okusaba kwabwe era ezo zonna eziri ku mabanja ga bbanka zirina okulaga obukakafu ku nsonga eno.

Wabula abamu ku bannannyini bbaasi bwe baagenze okusaba, mu ppaaka emu baasabiddwa obukadde 10 okusobola okufuna ekifo ekintu TLB kye yawakanyizza n’eragira ensonga essibwe mu buwandiike esobole okusalirwa amagezi.

Hon. Nathan Byanyima, nannyini kkampuni ya bbaasi za Ibabu Coach nga zikolera mu Qualicel agamba nti, bakyateeseganya ne bannannyini ppaaka za bbaasi okulaba nga bassa ku bisale.

Francis Muwanga, maneja wa ppaaka ya Namayiba yagambye nti enkola eno egenda kukendeeza akalippagano k’ebidduka mu Kampala ng’ekisigadde be bannannyini bbaasi ne bannannyini ppaaka okukkaanya.

Buli bbaasi etikka abasaabaze mu ppaaka ez’enjawulo, mu Kampala ebadde esasula 50,000/-. Wabula waliwo ssente endala bbaasi ze zisaasaanya okuli eza ba bbulooka abayita abasaabaze nga bbaasi ezimu okujjula zisaasaanya ssente ezisukka mu 100,000/-.

Ssebaana Kizito, nannyini bbaasi za Bismarkan agamba nti, batutte ekiseera nga beekubira enduulu olwa ssente ennyingi ezibasabibwa mu buli kitundu gye bayita ng’okugenda n’okudda bbaasi ezimu zisaasaanya ssente ezisukka mu 70,000/-. Bbaasi zikyusiddwa ppaaka okusinziira ku gye ziraga

ng'abasinga baakwatiddwa ku misango egyekuusa ku pamiti. Ebirala ebikwatibwa mulimu: okuvuga endiima, abavuga mmotoka ze batakkirizibwa mu pamiti, okuyisiza mu makoona, mmotoka ganyegenya, obutaba na layisinsi za PSV ne yinsuwa za 3rd Party, okutikka akabindo, emipiira emikadde ne kalonda omulala.

Ssejjemba yagambye nti, ssente ezisukka mu bukadde 550 ze zibadde zaakakuhhaanyizibwa kkooti mu kikwekweto kino.

Sarah Kibwika, akulira ebikwekweto bya tulafiki agamba nti, baddereeva abatalina bisaanyizo baali badduka ku luguudo lw'e Masaka olw'ekikwekweto ne badda ku nguudo endala nga n'abamu bayita mu buwenjuwenju wabula tubisalidde amagezi.

"Kye tunoonya bwe bulamu bw'abantu abeeyambisa enguudo ne baddereeva okweggyamu endoowoza enkyamu gye babadde nayo nti oluguudo lwakolebwa bubi ekivaako obubenje," Kibwika bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....