TOP

Okukebera mmotoka okw'obuwaze kuzze n'obukwakkulizo

Added 24th November 2016

Mmotoka okuli nnamba z'amawanga ag'omuriraano n'amalala bwe zinaasussa emyezi esatu mu ggwanga nazo zaakuwalirizibwa okutwalibwa okwekebejjebwa okuzuula embeera yaazo oba ezisobozesa okuvugibwa ku nguudo Robert Kisaakye okuva mu kitongole kya Transport Licensing Board (TLB) mu lukiiko lw’abavuzi ba takisi olwatudde ku Kati Kati Restaurant mu Kampala wiiki ewedde yagambye nti enteekateeka y'okwebejja ebidduka mu nkola ey'obuwaze yagendereddwaamu kutangira bubenje ku nguudo.

 Emmotoka za Gavumenti nazo zaakwekebejjebwa.

Emmotoka za Gavumenti nazo zaakwekebejjebwa.

Bya Samuel Balagadde

OKWEKEBEJJA ebidduka okw'obuweze kutandika ku Mmande nga November 28 era kwakuzingiramu n’emmotoka za Gavumenti.

Kwakutandikira ku bidduka ebisaabaza abantu omuli bodaboda. takisi, Coaster, bbaasi , mmotoka z'abalambuzi, ezeetikka emigugu n’endala ezigwa mu kkowe lino. Emmotoka zigenda kusooka kwekebejjebwa Kawanda - Matugga ku luguudo lw'e Bombo.

Kkampuni ya SGS eyapatanibwa Gavumenti okwekebejja ebidduka yamalirizza ekifo ky'e Kawanda – Matugga ng'ebirala okuli ekiri e Nabbingo ku luguudo lw'e Masaka, e Namulanda ku lw'e Ntebe ssaako ne ku Jinja Road bikyakolebwa.

Wabula SGS erina ebyuma ebirala by’etambuliza ku mmotoka nga biva mu kifo ekimu okudda mu kirala ebikola omulimu gwe gumu nga bigenda kuba byeyambisibwa mu bifo ebiri ewala n'ebifo ebyassiddwaawo okwekebejjeramu ebidduka.

Mmotoka ennene omuli loole n'ezisaabaza abantu omuli takisi, Coater ne bbaasi zaakwekebejjebwa buli luvannyuma lwa myezi mukaaga olw'emirimu gye zikola n'okuba nga zibeera ku luguudo buli kiseera.

Mmotoka okuli nnamba z'amawanga ag'omuriraano n'amalala bwe zinaasussa emyezi esatu mu ggwanga nazo zaakuwalirizibwa okutwalibwa okwekebejjebwa okuzuula embeera yaazo oba ezisobozesa okuvugibwa ku nguudo Robert Kisaakye okuva mu kitongole kya Transport Licensing Board (TLB) mu lukiiko lw’abavuzi ba takisi olwatudde ku Kati Kati Restaurant mu Kampala wiiki ewedde yagambye nti enteekateeka y'okwebejja ebidduka mu nkola ey'obuwaze yagendereddwaamu kutangira bubenje ku nguudo.

Yagambye nti wadde ng'ekigendererwa enteekateeka eno kya kulwanyisa mmotoka ziganyegenya ku nguudo, agenda okutwala mmotoka ye okwekebejjebwa ateekwa okuba ne kkaadi yaayo eri "oligino".

Yagambye nti mmotoka za Gavumenti zirina okugenda n'ebbaluwa okuva eri abawandiisi b'enkalakkalira okuva mu minisitule ez'enjawulo ate Haji Muniiru Kayanja owa HMK Bus Transporters: Gavumenti yakoze kyamagrezi okuzzaawo enkola y’okwekebejja ebidduka kuba bingi bibadde tebisaanira kuvugibwa ku nguudo.

N’ababibba nabo bajja kukendeera. Khalid Mukiibi: Takisi okugiggyako emitwalo 10 buli luvannyuma lwa myezi mukaaga ate ng’esasula emisolo emirala kiba kitegeeza kugoba bantu mu mulimu guno. Lwaki tebakebera ebidduka omulundi gumu omwaka!

 

Ebigenda okwekebejjebwa

  • Mmotoka eteekwa okubeera ennamu, nga yingini yaayo tefuuwa mukka, mmotoka eteekwa okuba ng'esiba bulungi, ettaala nga zaaka bbulu ate ng'ez’omu maaso teziriimu "ndali'.
  • Mmotoka eteekwa okubeerako emipiira okuli enjola .
  • Kkaadi ya mmotoka by’eyogera bye biteekeddwa okubeera ku mmotoka okuli yingini, Chassis oba ffuleemu, langi ya mmotoka , sayizi y'emipiira , obungi bw'abantu oba obuzito bw'emigugu by’etikka ne kalonda omulala.

Ebisale

  1. Bodaboda, 46,400/-;
  2. mmotoka za buyonjo 93,400/-;
  3. Takisi ezitasussa basaabaze 20 baakusasula 103,400/-;
  4. Coaster okuva ku basaabaze 20 okutuuka 60 esasula 50,000/-;
  5. Bbaasi z'abasaabaze abasukka 60 esasula 800/-;
  6. Mmotoka z'emigugu ezitasussa ttaani 3.5 93,400.
  7. Mmotoka za ttani 3.5 nga tezisukka ttani 10 zisasula 125,000/-;
  8. Loole ezisukka ttani 10 osasula 50,000/- ;
  9. Lukululana zisasula 16,700/-.
  10. Buli akizolo eyitamu osasula 800/-.

Engassi

Mmotoka eteetuukirize bisaanyizo bw’eneeba ezzibwayo okuddamu okwekebejjebwa egenda kuweesebwa engassi ya bitundu 50 ku 100 ku ssente ezisasulibwa entongole.

Enkola eno yaliwo mu ggwanga wabula olw'okuba kaali kakwakkulizo mu kuzza obuggya layisinsi z'ebidduka eza buli mwaka (Road licence) ezaggyibwawo mu 1998, enkola eno yano yadibizibwa.

Yali eddukanyibwa poliisi y'ebidduka eyeekebejja ebidduka emanyiddwa nga IOV e Naggulu ku kitebe ne ku matabi ag'enjawulo mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu wabula bwe yazziddwaawo yazziddwa mu kkampuni y'obwannannynyi eya SGS oluvannyuma lw'okuvuganya n'amakampuni amalala.

Gavumenti yassa obukwakkulizo ku kkampuni ya SGS okuba ng'egula ettaka lyayo okuzimbako ebifo byayo ebyetongodde ebiddukanye.

Ronald Amanyire, omuwandiisi w’akakiiko akalwanyisa obubenje mu ggwanga aka National Road Safety Council yagambye: Okwekebejja ebidduka si kipya, kyali kiyimiriziddwa olw’enteekateeka eyaliwo.

Kijja kutuyamba okulwanyisa obubenje y’ensomnga lwaki n’emmotoka za Gavumenti ku luno zongeddwaako ekitaaliwo ku luli.

Mmotoka ennene omuli loole ze zijja okwekebejjebwa buli myezi mukaaga, endala zonna za kuddangamu okukeberwa luvannyuma lwa mwaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu