TOP

Bodaboda z'e Ntebe bazitaddeko manvuuli

Added 20th April 2017

BAGAMBA nti enswa bw’ekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, era n'ensi bw’egenze ekula buli kimu kitandise okukyuka omuli n'ebyentabula.

 Bodaboda ze bataddeko manvuuli e Ntebe.

Bodaboda ze bataddeko manvuuli e Ntebe.

Bya JULIET LUKWAGO

BAGAMBA nti enswa bw’ekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, era n'ensi bw’egenze ekula buli kimu kitandise okukyuka omuli n'ebyentabula.

Abavuzi ba bodaboda e Ntebe batandise okuziwunda okusobola okutuuka ku mutindo nga bateekako manvuuli okuziyiza empewo, omusana n’enkuba.

Abavuzi ba bodaboda ku siteegi ezisinga omuli Mworo, Mall n'endala bazitaddeko manvuuli ng’akamu ku bukodyo bw’okusikiriza bakasitoma.

Okusinzira ku James Arinaitwe, omu ku ba bodaboda, ebiseera bino omuvuzi n'omusaabaze balina essanyu anti batambula nga bakungu, empewo tebafuuwa nnyo, enkuba n'omusana byonna tebabiwulira nga bwe kiri ku bodaboda endala.

Yagambye nti ekyukakyuka eyo erabisizza pikipiki obulungi.Manvuuli ziwanirirwa ebyuma eby’amaanyi ebitasobola kwekyusa nga pikipiki evugibwa.

Moses Kisoma, naye omuvuzi wa bodaboda yagambye nti abazadde ababawa abaana okubatwala n’okubanona ku masomero bettanira nnyo bodaboda eziriko manvuuli kubanga omwana aba awonye. empewo, enkuba n’omusana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...