TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abavubi e Katosi basitukiddemu okutaasa Nalubaale

Abavubi e Katosi basitukiddemu okutaasa Nalubaale

Added 10th May 2013

Ekiddo mu kiseera kino ky'ekisinga okuba eky'obulabe ku nnyanja Nalubaale. Ekiddo kirina ebimuli ebisikiriza era nga kisuubirwa nti abalimi by’ebimuli n’abakugu abanoonyereza ku bimera be baakireeta era nga lino ly’ekkubo mwe kyayita okutuuka ku Nalubaale mu 1980 nga kyava ku mugga Kagera mu Rwan



Bya RUTH NAZZIWA

Ekiddo mu kiseera kino ky'ekisinga okuba eky'obulabe ku nnyanja Nalubaale. Ekiddo kirina ebimuli ebisikiriza era nga kisuubirwa nti abalimi by’ebimuli n’abakugu abanoonyereza ku bimera be baakireeta era nga lino ly’ekkubo mwe kyayita okutuuka ku Nalubaale mu 1980 nga kyava ku mugga Kagera mu Rwanda. 

Kyasinga kukyaka wakati wa 1992 ne 1998, wabula we twatuukira mu 2001 nga kikendedde olw'amaanyi agaakissibwako mu budde obwo. 
 
Henry Mukasa Bbosa, akulira eby’obuyonjo ku mwalo gw’e  Katosi agamba nti ekiddo kino kikula mangu ate ensigo zaakyo tezifa. Kyemeza kyokka ng’amayengo bwe gakikuba, kikutukako ekitundu ekya waggulu oba ensigo ne bimerera yonna gye kiba kigudde ekikireetera okusaasaanya. 
 
Ebyembi ekiddo kino bwe kiba kimera kigenda kyekubisaamu buli luvannyuma lw’eddakiika eziri wakati w'ettaano ne 15 era bwe kiba kikomyewo, ebikolo 25 bisobola okuvaamu ebikolo 2,000,0000. 
 
Kino kitegeeza nti ekiddo bwe kitandika okumera ku mazzi kisobola okumera okutuusa lwe kibikka ennyanja yonna ne kifuuka ng’omukeeka singa temukirabuukirira. 
 
Obulabe 
 
1 Kyonoona amazzi n’okugakendeeza kuba kibeera kigakozesa nnyo ate gaba tegasobola kutambula bulungi ekigalemesa okwesengejja n’okutambuza ebicaafu ebiba bigagenzeemu.
 
2 Enkuba bw'etonnya kisukka kuba kikula mangu nnyo ekireetera emyala egitambuza amazzi okuzibikira. Embeera eno eyinza okuvaako ennyanja okujjula n'ebooga kuba amazzi gaba tegakyatambula oba okwesengejja obulungi ekiyinza okuvaako amataba.
 
3 Ekiddo kino, bwe kiba kyatandise okumera amakubo amaato mwe gayita gaba ga kuyiiya kuba kigaziba, oluusi we mutambulira eddakiika 30, ne kibatwalira essaawa emu oba bbiri okutuuka gye mulaga ekireeta n’ebisale okulinnya. Oluusi muyinza n'obutasobola kukiyitamu ekitaataaganya emirimu.
 
4 Ekyennaku ebyennyanja, ebisolo n’ebiwuka eby’omu mazzi nabyo bikosebwa singa kimera ne kibikka ennyanja. Bino bifa  olw’obutafuna mpewo nnungi emala ng'ate bikaluubirizibwa okugenga ku mazzi ku ngulu olw’ekiddo ekiba kibisseeko.
 
5 Ate n’abavubi baba tebakyasobola kukola kuba amaato gaba tegakyasobola kutambulira ku mazzi ekibakuba obwanvu. 
 
6 Endwadde zeeyongera mu bitundu ebyo olw’amazzi okulegama, ebitonde n’obucaafu okuvundiramu. Kino kivaako ensiri n’ebiwuka ebireeta endwadde okwaluliramu ekivaako endwadde nga: omusujja, kkolera n’endala.
 
7 Ebiwuka n’ebisolo eby’obulabe nabyo byekweka mu kiddo kino naddala emisota ne ggoonya ate toyinza kubiraba ekiyinza okuvaako abantu okubojjebwa emisota n'okugajambulwa ebisolo ebirala. 
 
8 Ekiddo we kimaamira ebyennyanja tebibaawo era tebyalulirawo ekibireeta okukendeera. 
 
9 Ekiddo kino kitegulula emitego era singa ejjengo likikuba ne kiyingira mu mutego gwo tokwasa, ate oluusi n'okaggyayo nga byakayuzizza.
 
10 Abalambuzi n’abaguzi bwe bamanya nti ennyanja eriko ekiddo tebaagala kujja kulambula ekinyigiriza enfuna y’abantu mu kitundu.

'Gavt. etuwe ebikozesebwa'
 
Buli muntu eyeeyambisa ennyanja Nalubaale n’abagikolerako bonna ku myalo egy’enjawulo okukolera awamu we kiba kyetaagisa okulwanyisa ekiddo okulaba nga kiggwa ku nnyanja yaffe.
 
Tusaba ne Gavumenti etuwe ebikozeseba okusobola okulwanyisa ekiddo kino.
 

Abavubi e Katosi basitukiddemu okutaasa Nalubaale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...