TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Okuggala emyalo e Mukono kinaataasa Nalubaale?

Okuggala emyalo e Mukono kinaataasa Nalubaale?

Added 27th May 2013

ENVUBA embi kye kimu ku bintu ebiragiddwa ebyonoonye ennyanja Nalubaale. Abavubi bakozesa obutimba bu mukokota ne bakwata ebyennyanja ebito wamu n'amagi gaabyo!Bya Henry Nsubuga

ENVUBA embi kye kimu ku bintu ebiragiddwa ebyonoonye ennyanja Nalubaale. Abavubi bakozesa obutimba bu mukokota ne bakwata ebyennyanja ebito wamu n'amagi gaabyo!

Abavubi abamu bakozesa butwa okutta ebyennyanja, kuno gattako amakolero ag’enjawulo ageefunyiridde okuta kazambi n’aggweera mu nnyanja.

Ku ntandikwa y'omwezi guno, abakulembeze mu disitulikiti y’e Mukono baasisinkanye Pulezidenti Yoweri Museveni ne bamusaba akozese amagye okusiba ennyanja Nalubaale okumala emyezi ebiri.

Nga bakulembeddwa ssentebe wa disitulikiti, Francis Lukooya Mukoome, baategeeza nti abakwata abavuba obubi balya enguzi mu kifo ky'okuyamba okumalawo omuze guno.

Ssentebe Lukooya agamba nti ekirina okukolebwa kwe kugema ekyo ekivaako envuba embi.

“Ebyennyanja bwe biba mu nnyanja tewali nsonga lwaki omuvubi akwata obuto.

 

Omuvubi ku mwalo e Kiyindi ng'asitudde empuuta ekuze.

 

N'olwekyo tusale amagezi agakomyawo ebyennyanja nga tusiba ennyanja," Lukooya bwe yagambye.

Okutandika nga July 1, 2013 okutuuka nga September 30, 2013, amazzi gonna agali ku nnyanja Nalubaale e Mukono tegakkirizibwa kuvubirako.

Kino kijja kukola buli mwaka kuba mu kiseera kino ne ku nnyanja kubaako omuyaga ng’era obubenje obuzze bubeerako bwakuggwaawo.

"We tunaatuukira mu October abavubi okuddamu okuvuba ng’ebyennyanja bikuze bulungi.

Guno si gwe gusoose okusiba ennyanja. Mu myaka gya 1990 abavubi bwe baali bavubisa obutwa, ebyennyanja bya Uganda ne babiwera mu mawanga g'Abazungu, ennyanja yasibibwa era yagenda okuddamu okusumululwa ng’ebyennyanja byeyongedde," Lukooya bw'agamba.

Omwaka guno, Minisita Ruth Nankabirwa yalagira omwalo gw’e Nsazi mu Buvuma okuggalwawo okumala omwezi gumu n’ekitundu bwe yasanga abavubi baakwo nga beenyigira kyere mu nvuba emenya amateeka.

Baagenda okuddamu okuguggula ng’ebyennyanja bikuze.

Ssentebe Lukooya agamba: Okuggala ennyanja kigenda kukosa abantu bangi okuviira ddala ku muvubi asooka, abasuubula ebyennyanja, ababirya naffe abasolooza emisolo ku nnyanja.

Tugezezzaako okuteesa n’abakulembera disitulikiti ezituliraanye omuli, Buikwe, Buvuma, Kalangala, Mayuge n’endala naye bakyakigaanyi.

Ab’e Buvuma baagala kugenda nga basiba mwalo ku mwalo naye kino tekijja kukola."

Abavubi 75 ku buli 100 abali mu Mukono bategeezeddwa ku nteekateeka eno wabula abamu bagiwakanya.

Bagenda kukola ki?

Ssentebe Lukooya agamba nti baagala abavubi bakole emirimu emirala mu kiseera ng'ennyanja eggaddwa. "Bayinza okulima oba okukola emirimu emirala egy'emikono.

Kino kijja na kukendeeza ku bungi bw’abantu abatunuulidde ennyanja ng’engeri yokka ey’okubeerawo.

Kati tugenda kusomesa ab'obukiiko obuddukanya emyalo (BMU) kuba bbo bennyini nga bali wamu n’abavubi be tugenda okukozesa okukuuma ennyanja waleme kubaawo agivubamu.

Bwe tunaasanga omwalo gye bakyavuba ng'etteeka litandise okukola, olukiiko olwo lujja kuyiibwa n'abaluliko bavunaanibwe,' Lukooya bwe yagambye.

Ekiseera ng’ennyanja esibiddwa, abavubi ku myalo gyonna baakuwandiikibwa. 

Bw'eneggulwawo abo abatawandiikiddwa tebajja kukkirizibwa kuvuba naye. Omuze gw’abavubi okuva mu bitundu ebirala okweyiwa e Mukono bavube nakyo kijja kutangirwa.

Masitula Namaganda, sipiika w’eggombolola y’e Ntenjeru era atuula ku lukiiko olufuga omwalo gw'e Katosi agamba nti ennyanja erina ebizibu bingi ebizzeewo olw’abasindikibwa okulwanyisa envuba embi n’abakungu ba Gavumenti okudobonkanya enkola ekkirizibwa.

"Simanyi oba okusiba ennyanja kinaatuukirira naye nga kirimu eggumba," Namaganda bw'agamba.

Ssentebe wa disitulikti y’e Buvuma Adrian Wasswa Ddungu agamba nti aba disitulikti y’e Mukono ekibeeyinuza kwe kuba nti bbo balina engeri endala ez’okwebeezaawo mwe bayinza okuggya emisolo.

"Ffe e Buvuma twetooloddwa nnyanja era mwe tujja ssente ezitubeezaawo," bwe yagambye.

Ssentebe Ddungu agamba: Nze ndowooza nti essira tulisse ku kusalira nvuba mbi magezi kuba ne bwe tunaasiba ennyanja, era bwe tunaagiggulawo abavuba obubi bajja kukomawo.

Gavumenti esooke erwanyise obwenyanja obuto okuviira ddala mu butale ne mu maka g'abantu. Lwaki Lukooya tasooka kulwanyisa abo?

Kansala era omusuubuzi w’ebyennyanja ku mwalo gw’e Kiyindi, Phillip Lubowa agamba nti tawagira kya kusiba nnyanja kuba abantu bangi abali ku myalo egy’enjawulo nga tebalina ngeri gye bajja kukuumibwamu ng’ennyanja esibiddwa.

Bakanyama ku mwalo e Kiyindi nga batikkula mukene okuva mu lyato.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...