TOP
  • Home
  • Emboozi
  • MUTEESA II: Olwamuyingiza mu byobufuzi ebizibu bya Buganda ne bisajjuka

MUTEESA II: Olwamuyingiza mu byobufuzi ebizibu bya Buganda ne bisajjuka

Added 30th May 2013

TEWALI kubuusabuusa nti ensibuko y’ebizibu bya Buganda ku mulembe guno yava ku kuba nti Kabaka yayingizibwa mu byobufuzi.


 

 

 

 

 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II Mulangira wa Ssekabaka Sir Edward Muteesa II. Ng’ebula ennaku 62 okutuuka ku matikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31, 2013, DICKSON KULUMBA alaze engeri Ssekabaka Sir Edward Muteesa II gye yayingizibwamu mu byobufuzi ekyavaako ebizibu buya Uganda n’okutuusa kati.

TEWALI kubuusabuusa nti ensibuko y’ebizibu bya Buganda ku mulembe guno yava ku kuba nti Kabaka yayingizibwa mu byobufuzi.

Kigambibwa nti mu 1963, Ssekabaka Sir Edward Muteesa II bwe yakkiriza okubeera Pulezidenti wa Uganda, kyasanyusa nnyo Katikkiro Milton Obote n’agamban nti, ‘Oyo mmumaze!’

Kanaaluzaala yava ku kuba nti abaami ba Ssekabaka Muteesa II beekolamu ekibiina ky'ebyobufuzi ne bakituuma Kabaka Yekka ( KY). KY kino kye kyakola omukago ne UPC eyali ekulemberwa Obote ne batuusa eggwanga ku kwefuga.

KY kyatandikibwawo ku musingi gw'abantu abaali bakkiriza nti Kabaka yekka gwe mutwe gw'obukulembeze mu Buganda ne Uganda.

Baatandika kaweefube okubunyisa n'okunnyikiza kye baayita omwoyo gwa Buganda ogutafa.

Omulangira Ronald Muwenda Mutebi ng’aliko by’awandiika.

Mu ngeri eyo ne baawula ekibiina kya KY ku bibiina ebirala eby'abantu baabulijjo.

Bano baatandikawo ekibiina era ne bamatiza abantu nti Uganda yaakufugibwa Kabaka nga bwe kyali okuva ku bajjajja ffe.

Okusinziira ku kitabo Ebyafaayo n’Ebifa mu Buganda ekya Gordon Wavamunno, abayima ba KY baasomesanga ebyafaayo by'Obwakabaka bwa Buganda ne balowoozesa abantu nti Kabaka y’abatumye.

Ekigambo ekyasembangayo kyali nti, okusobola okuleka Kabaka waggulu, ekkubo lyali limu kujjukira nga wabaddewo okulonda Olukiiko olukulu olwa Buganda, Omuganda asaanye okulonda oyo yekka alina ebisaanyizo.

Okuva mu 1953, Buganda yali yeetongodde mu bintu bingi. Muteesa II bwe yawang’anguzibwa mu mwaka guno, wadde Buganda yasigala ekungubaga, kyayanguyaako
amaanyi g‘okusaba obwetwaze.

Mukulu we, Omumbejja Zalwango yafa olw'ensisi. Ng’eno Abaganda bwe balwana buli
omu mu ngeri ye, abalala baatondawo ebibiina byobufuzi nga ekya UNC ekyali kikulemberwa Ignatius Kangavve Musaazi.

Abataakwatagana na Musaazi baatondawo DP mu 1954 ate abalala ne batondawo UPU.

Ssekabaka Sir Edward Muteesa II ne Nnaabagereka Damalie.

OKULONDA KATIKKIRO
Okulondebwa kwa Micheal Kintu ku bwakatikkiro 1956 kwakyusa ebintu bingi. Kwaleetera
ne Kabaka okuyingira obutereevu mu byobufuzi.

Kintu yawandiikira Abangereza ng’abategeeza nga Buganda bwe yali yeetaga obwetwaze bwayo.

Era nabo ne bamuddamu nti obwetwaze tebaali beetegefu kubuwa Buganda yokka wabula
eri Uganda yonna ng’ekiseera kituuse!

Mu kitabo Ennono n’Enkulaakulana ekya Tarsis Nsobya, agamba nti Katikkiro Kintu, olutabaalo yalulumba n’endowooza nti Buganda bw’eweebwa obwetwaze ne yeefuga, yali esobola okuteesa ne balirwana baayo abaali mu kipooli ky’Omuzungu ne bakola eggwanga erinaatambulira ku nfuga ya Federo.

Sir Edward Muteesa mu Lubiri lwe e Mengo.

Katikkiro Kintu yateesa nti endagaano Buganda gye yasooka okukola n’Abangereza mu 1893
yali wakati wa Ssekabaka Mwanga II, Abaganda n’Abangereza, ebitundu ebirala tebyagiriimu. Kyokka ekyo Abangereza tebaakiddamu.

Mu kulonda kwa 1958, UNC yeegatta ne UPU ne bakola Uganda Peoples’ Congress ( UPC), ate mu 1960 Jolly Joe Kiwanuka n’akunga banne ne basuula Musaazi mu lukiiko olwali e Mbale ne balonda Obote.

Mu kulonda kwa 1961, abantu abasinga mu Buganda baagaanibwa Olukiiko lw’e Mmengo okwetabamu okutuusa ng’ensonga y’ekifo kya Kabaka mu nsi ey’awamu ( Uganda) kimaze okulung’amizibwa.

Kyokka ekyo tekyalobera kulonda kubaawo, era byaggwa Ben Kiwanuka owa DP y’ali ku ntikko era n’alondebwa okuba Chief Minister.

Endowooza ya Ben Kiwanuka n’ekibiina kye yali yabutateeka Kabaka wa Buganda mu byabufuzi mu ngeri yonna kubanga ye ky’ekitikkiro ekirina okugatta Abaganda bonna.

Omumbejja Dorothy Nassolo ne jjajjaawe Ssekiboobo Ham Mukasa.


Katikkiro Kintu n’Olukiiko baalonda akakiiko ka Buganda Constitution Committee okwali bano Katikkiro Kintu, A. D. Lubowa, Amos K. Sempa, Walugembe, Dr. Muwazzi, Dr. Lumu ne Leonard Basudde.

Ssekabaka Muteesa II yaleka abaana awamu 17 naye ng’eddaame lye lyalaga abaana mwenda kubanga yalikola mu 1956, ate nga waliwo abaddako.

Bano be baana ba Muteesa II.


1. Dorothy Namukaabya Kabonesa Nassolo
2. Sarah Nandawula Kagere
3. Agnes Christine Nabaloga.
4. Alice Zalwango Mpologoma
5. Robert Kimera Masamba Kiweewa
6. David Golooba
7. Ronald Muwenda Mutebi
8. Micheal Ndawula
9. Mukarukidi Dina Kigga
10. Patrick Nakibinge
11. Herbert Kagulu Kateregga
12. Diana Balizzakiwa Muggale Teyeggala
13. Richard Bamweyana Walugembe
14. Jane Muchwa Mpologoma
15. Yusuf Ssuuna
16. Gertrude Nabanaakulya
17. David Wasajja

Owoomerwa ‘shisha’ naye weeyitira kookolo’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...