TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Oluzzi lwa Mukajanga: Omusaayi gw'Abajulizi guluwa emikisa egyenjawulo

'Oluzzi lwa Mukajanga: Omusaayi gw'Abajulizi guluwa emikisa egyenjawulo

Added 3rd June 2014

BULI kintu eky’ensonga mu Buganda kituumibwa erinnya era ne Nakiyanja oluzzi olujjudde omusaayi lwaweebwa erya ‘Mukajanga’ olw’Abajulizi Mukajanga be yattanga nga mw’ayoleza ebiso n’okunaabako omusaayi ogwamusammukiranga.



Bya LAWRENCE KITATTA

BULI kintu eky’ensonga mu Buganda kituumibwa erinnya era ne Nakiyanja oluzzi olujjudde omusaayi lwaweebwa erya ‘Mukajanga’ olw’Abajulizi Mukajanga be yattanga nga mw’ayoleza ebiso n’okunaabako omusaayi ogwamusammukiranga.

Omwawule w’obusumba bw’e Namugongo ku kiggwa ky’Abajulizi, Rev. Canon Henry Segawa annyonnyola nti oluzzi luno teruyitibwa lwa Mukajanga nti olw’okuba ye yalusima kubanga lwa nsulo era lwaliwo okuva edda.

Ekiruyisa olwa Mukajanga gwe musaayi gw’Abajulizi mukajanga gwe yayolezangamu ng’alongoosa ebiso bye yabattisangan’okunaaba.

MUKAJANGA YATYA OKUTTA MUTABANI WE

Ekiggwa kino eky’Abajulizi kyattirwamu Abajulizi 25 nga 12 baali Bakatuliki ate 13 baali Bakrisitaayo era ng’abasinga Mukajanga yabasalanga balaba okuggyako mutabani wa muganda we, Mbaga Tuzinde gwe yasooka okwegayirira ave mu ddiini n’agaana. Ono ye yalagira bambowa abaamuleeta be baamukuba akakumbi ku nkoona, yamwokya bamaze
kumumuttira.

Rev. Can. Ssegawa

Bwe kuba kubeerana mukisa amazzi g’oluzzi lwa Mukajanga gaanaazibwa omusaayi gw’Abajulizi era nga gajjudde emikisa egitagambika kuba abajulizi bonna 23 omusaayi gwabwe Mukajanga yagunaabirako mu luzzi olwo. Ku kiggwa ky’Abakatoliki yo waaliyo kyoto era nga gye baatusizanga Abajulizi.

Eno waaliyo mumyuka wa Mukajanga eyayitibwanga Ssenkoole eyabassangako obulambe nga bw’akulambako n’ekisiriiza ng’oli wa kwokya n’obengeya ng’olaba era ye yatta Kalooli Lwanga mu kwesasuza olw’obutakkaanya bwe baalina okuva emabega.

Buno bwava ku kusima nnyanja ya Kabaka kuba Kalooli Lwanga ye yali akulira abaagisima Ssenkoole n’akozesaamu okunaanya era n’amuwaabira ewa Kabaka ne bamubonereza.

Kyamuluma nnyo okumuweesa ekibonerezo, era bwe baaleeta Abajulizi e Namugongo yali alondako omu gw’asigaza kwe kusalawo asigaze

Francis Mugisha, Mbarara: Buli lwe tujja wano okusaba amazzi gano gatuyamba nnyo era galina omukisa ogutagambika olw’ensonga nti abajulizi paapa yabalangirira era ne bafuuka abatuukirivu.

Kitegeeza bwe ntwala ku mazzi ga Nakiyanja tewali kubuusabuusa omukisa mbeera ngulina era essala yange gye nsaba eyanukulwa.

Joan Katushabe, Kannungu: Oluzzi lwa Mukajanga tusaba kkanisa eruteekeko ebirowoozo era eyongere n’okuluddaabiriza olw’ensonga nti embeera gye lulimu si ya mulembe ate nga lwa makulu nnyo gye tuli era lutuyamba nga tuzze okulamaga.

Patience Katushabe, Kannungu: Oluzzi luno lukulu nnyo mu Uganda era lwa byafaayo, tusaba baluzimbeko bulungi kuba abajulizi omusaayi gwabwe gulinga ogutaweebwa kitiibwa olw’ebyo ebirukolerwako ebirabika nga birutyoboola sso singa luba lubugiriziddwa kiba kirungi kuba kitangira n’ensolo okulunywamu.

Ekiggwa kino eky’Abajulizi kyattirwamu Abajulizi 25 nga 12 baali Bakatuliki ate 13 baali Bakrisitaayo era ng’abasinga Mukajanga yabasalanga balaba okuggyako mutabani wa muganda we, Mbaga Tuzinde gwe yasooka okwegayirira ave mu ddiini n’agaana.

Ono ye yalagira bambowa abaamuleeta be baamukuba akakumbi ku nkoona, yamwokya bamaze kumumuttira. Bwe kuba kubeera na mukisa amazzi g’oluzzi lwa Mukajanga gaanaazibwa omusaayi gw’Abajulizi era nga gajjudde emikisa egitagambika kuba abajulizi bonna 23 omusaayi gwabwe Mukajanga yagunaabirako mu luzzi olwo.

Ku kiggwa ky’Abakatoliki yo waaliyo kyoto era nga gye baatusizanga Abajulizi  eno waaliyo mumyuka wa Mukajanga eyayitibwanga Ssenkoole eyabassangako obulambe nga bw’akulambako n’ekisiriiza ng’oli wa kwokya n’obengeya ng’olaba era ye yatta Kalooli Lwanga mu kwesasuza olw’obutakkaanya bwe baalina okuva emabega.

Buno bwava ku kusima nnyanja ya Kabaka kuba Kalooli Lwanga ye yali akulira abaagisima Ssenkoole n’akozesaamu okunaanya era n’amuwaabira ewa Kabaka ne bamubonereza.

Kyamuluma nnyo okumuweesa ekibonerezo, era bwe baaleeta Abajulizi e Namugongo yali alondako omu gw’asigaza kwekusalawo asigaze Kalooli Lwanga amwesasuze.

‘OMWANA WANGE YAWONA AMAASO’

Adrian Kigenyi yavudde West Ankole Diocese era agamba nti, “ Gano amazzi ga Nakiyanja sigalojja kuba najja wano omwaka oguwedde ng’omwana wange azibye amaaso, bwe namutwala mu ddwaaliro bang’amba nti obulwadde tebabulaba.

Bwe najja ne ntwala ku mazzi gano ne munaaza ne tusaba amaaso gaawona nga kati ali musiniya yaakusatu”. MouereenKabashalira, 76, yavudde Kabale era agamba nti, “Sirina kubuusabuusa, gano amazzi galina omukisa ogutagambika olw’ensonga nti waliwo omulwadde eyali azirise ku kyalo kyaffe okumala ennaku ssatu, wabula nakwata amazzi gano ge nnasenako omwaka oguwedde ne mmuyiira oluvannyuma ne tusaba essaala ey’amaanyi omulwadde n’adda engulu era nnasalawo okulamaga
buli mwaka nnasalawo okulamaga

OMUTI NDAZAABAZADDE

Rev. Canon Henry Segawa agamba nti, okusinziira ku byafaayo ku kifo ekyo, omuti guno ekyaguweesa erinnya lya Ndazaabazadde abantu (abatali bajulizi) abattirwanga mu ttambiro kwe baasookanga okubasiba era ebiseera ebisinga balaajananga bayita maama, ekyaguweesa erinnya eryo.

Naye ekyasinga okutiisa Mukajanga, ku Bajulizi be yatta yabasibanga ku muti naye nga tekuli n’omu alaajana era n’atuuka n’okubatta nga tekuli n’omu alaajanye wadde okumuvuma ekigambo kyonna.

Sso ng’abalala be yatta bangi ku bo baalajananga abamu ne bamuvuma  n’okumufujjira amalusu Abajulizi kye bataakola.

LWAKI ABAJULIZI BATTIRWA NAMUGONGO?

Rev. Can. Segawa agamba nti, Namugongo kyatandikibwawo Ssekabaka Tembo mu 1760 era we yattiranga Abambejja, Abalangira, n’abakungu abaajeemeranga Kabaka era kye kyaleesa Abajulizi mu kifo kino kuba baalinga baana b’abakungu.

‘Oluzzi lwa Mukajanga: Omusaayi gw’Abajulizi guluwa emikisa egyenjawulo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...