Aba NUP batandise okwetegekera okulonda kw'obukiiko bw'abakyala ku byalo

Phiona Nanyomo
Journalist @Bukedde
May 24, 2022

Abakulembeze mu kibiina kino basoose kusisinkana bannakibiina mu nteekateeka yaabwe gye baatuuma 'Kunga Uganda' ng'ensisinkano eno ebadde ku Social Center e Bwala mu kibuga Masaka.

Abakulembeze b'ekibiina kino nga bakulembeddwamu ssaabakunzi Fred Nyanzi n'abalala bategeezezza nti enkola eno egendereddwamu okuzuukusa bannakibiina yonna gye bali okusobola okwetegekera okulonda obukiiko bw'abakyala ku mittendera egyenjawulo basobole okusimba emirandira gy'ekibiina kibasobozese okukwata obuyinza.

Abamu ku bannakibiina kya NUP abeetabye mu nsisinkano n'abakulembeze ba Nuo

Abamu ku bannakibiina kya NUP abeetabye mu nsisinkano n'abakulembeze ba Nuo

Bagamba nti obukiiko buno abantu baali balowooza nti bulina kulondebwa bannakibiina kya NRM kye bagambye nti kikyamu kuba ssemateeka akkirizza ebibiina by'obufuuzi byonna mu ggwanga okwenyigira mu kulonda obukiiko buno.

Basinzidde wano ne basaba abakyala yonna gye bali okwenyigira mu nteekateka eno baleme kwetiiririra nti kuba abakyala we batali eggwanga terisobola kubaawo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});