Paasita atunudde ebikalu nga endiga ye emulumiriza okugibbako ettaka n'azimbako ekkanisa

Saul Wokulira
Journalist @Bukedde
May 28, 2022

Bino bibadde mu Kyerima mu ggombolola y'e Kitimbwa mu disitulikiti y'e Kayunga.

Cate Namuyiga y'awerenemba ne pasita Fred Makubuya gw'agamba nti yamusaba nti atandike okusabira wansi w'omuyembe ku kibanja kya Namuyiga era naye n'akikkiriza wabula bweyatambulamu n'agenda okukola bweyadda yasanga pasita Makubuya azimbye ekkanisa nga yekomezza ettaka lya yiika emu.

Paasita Makubuya n'ezimu ku ndiga z'asumba

Paasita Makubuya n'ezimu ku ndiga z'asumba

Namuyiga yatuukirira Pasita Makubuya n'amusaba wakiri amusasule akakadde kamu (1m/-) amulekera ekifo wabula ne yerema.

Ensonga yazongerayo mu kooti era mu 2017 omulamu omusango yagusala ne gumegga pasita Makubuya era omulamuzi n'amulagira addize Namuyiga ettaka ekintu kyeyagaana.

Namuyiga yagenze ewa RDC hajj Nsereko Mutumba era ono yasindiseyo Collins Kafeero avunanyizibwa ku kusitula embeera z'abantu n'okulung'amya ebintu by'abafu okutaputira pasita Makubuya ensala ya kooti ayamuke ettaka lya Namuyiga.

Makubuya asoose kulimba nti ekifo yakigula wabula oluvanyuma n'ayogera amazima era n'ayatula nti wakunoonya ekifo ekirala eno ekkanisa agiwaddewo.

Kafeero nga ali wamu n'owa poliisi Hellen Alikoba balung'amizza Pasita Makubuya nti ssinga yali tamatidde na nsala ya kooti yandibadde addayo mu kooti ne yemulugunya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});