Mwegendereza ebiteekebwa mu mutimbagano - Katikkiro Mayiga

Dickson Kulumba
Journalist @Bukedde
Aug 20, 2022

Okwogera bino yabadde asisinkanye Bannayuganda ababeera e Budaaki ng'ensisinkano  yabadde mu kibuga Amasterdam akawungeezi k'Olwokutaano.

Eno Katikkiro Mayiga akedde kusiibulayo enkya ya Leero okwolekera eggwanga ly'e Sweden ne yeebaza ab'e Budaaki olw'enteekateeka ennungi gye baakoze okumwaniriza n'ekibinja kye yayise nakyo.

Katikkiro Mayiga ng'ali e Budaaki

Katikkiro Mayiga ng'ali e Budaaki

Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku Baganda ababeera ebweru, Joseph Kawuki asabye ab'e Budaaki okuteeka mu nkola obubaka obwo Katikkiro bw'abeetikkidde okuva embuga nga y'engeri yokka gye basobola okumusasulamu olw'olugendo lw'atindizze okubasisinkana.

Abaganda ababeera e Budaaki bakulemberwa Mwami Ssekajugo Musoke ng'ono bw'abadde asiibula Katikkiro enkya ya leero ategeezezza nti balina essuubi nti baakudda kuno bateeke mu nkola enteekateeka z'Obwakabaka okuli Emmwanyi Terimba nga Katikkiro bw'abalambululidde.

Bannayuganda ababeera e Budaaki nga bakung'aanye okuwulira ebigambo bya Katikkiro Charles Peter Mayiga

Bannayuganda ababeera e Budaaki nga bakung'aanye okuwulira ebigambo bya Katikkiro Charles Peter Mayiga

Katikkiro Mayiga yasimbula Olwokusatu August 17,2022 okuva e Uganda okwolekera e Bulaaya gy'agenda okusisinkanira abantu ba Buganda abali e Norway gye yatandikira Budaaki nga kati ayolekedde Sweden gy'agenda okuva nga August 23,2022 nga waakutuuka e Scotland n'e  Bungereza gy'alimalira nga August 31,2022.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});