Abaawangula ebikopo bya Woodball mu masomero ga ssekendule banjulidde essomero ebikopo

Vivien Nakitende
Journalist @Bukedde
Sep 05, 2022

Mu mpaka zino eza woodball ez’amasomero ga siniya mu ggwanga lyonna, okutuuka ku Buwanguzi Luzira yakubye Airport SS 3 ku 0, mu gw’abalenzi ate abawala n’ewuttula Our Lady of Africa  2 ku 1 mu mpaka eziyindidde mu disitulikiti y’e Lira.

Peter Ssenyimba (mu ssuuti), akulira Luzira SS n'ebikopo ebyawanguddwa.

Peter Ssenyimba (mu ssuuti), akulira Luzira SS n'ebikopo ebyawanguddwa.

Bw’abadde alaga essomero ebikopo ebyawangulwa abayizi mu luwummula, akulira essomero lino,  Peter Ssenyimba, yeebazizza abayizi be olw’obuwanguzi n’ategeeza nti, bo baakkiririza mu bayizi okubeera nga beenyigira mu bintu eby’enjawulo omuli emizannyo, kikuume obwongo bwabwe nga buzuukufu.

Agambye nti, ng’oggyeeko omuzannyo gwa Woodball,  beetaba ne mu mpaka z’emizannyo endala omuli; omupiira gw’ebigere, okubaka, Kalati n’emirala.

Akubirizza abazadde bulijjo okuwagira abaana baabwe okwenyigira mu mizannyo egy’enjawulo ku masomero gaabwe,  kubanga kye kimu ku bibayamba okuzuula ebitone ate ng’ekitone kati kiriisa nga mulimi.

captain wa ttiimuy'abalenzi Brian Okide n'ekikopo kye baawangudde.

captain wa ttiimuy'abalenzi Brian Okide n'ekikopo kye baawangudde.

Yayongeddeko nti omuyizi eyeetaba mu by’emizannyo abeera afaayo nnyo nti era abeera alowooza nnyo okusinga oyo atagyettanira, n’asaba abazadde okugyagazisa abaana baabwe.

Brian Okide kaputeeni wa ttiimu y’essomero lino ey’abalenzi, yeebazizza abakulira essomero lino olw’obuwagizi n’ategeeza nti kino kikyali kituuza, bakyaleeta eikopo ebirala bingi.

Empaka zeetabwamu amasomero 24; ttiimu 12 mu balenzi ne 12 mu bawala okwabadde; Luzira ss, Mengo ss, Mityana ss, Kijjabwemi ss, Ngora high, St Henrys College Kitovu, Mbarara high, Mpoma Girls, Trinity College Nabbingo n’amalala.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});