Batenderezza omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere mu kumusabira mu makaage e Lubaga

Ssaabasumba Augustine Kasujja, omubaka wa paapa, asiimye emirimu gy’omugenzi  Dr. Paul Kawanga Ssemogerere n'aamwogerako ng’omusajja ow’amazima alese ekyokulabirako ekirungi.

Ssaabasumba Augustine Kasujja akulembeddemu Mmisa y'okusabira Dr. Paul Ssemogerere mu makaage e Lubaga, ku kkono ye Fr Achiles Mayanja bwannamukulu w'e Lubaga.
By Vivien Nakitende
Journalists @New Vision
#Batenderezza #Dr. Paul Kawanga Ssemogerere

Bya Vivien Nakitende

Ssaabasumba Augustine Kasujja, omubaka wa paapa, asiimye emirimu gy’omugenzi  Dr. Paul Kawanga Ssemogerere n'aamwogerako ng’omusajja ow’amazima alese ekyokulabirako ekirungi.

Abadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu makaage e Lubaga akawungeezi ka leero, bw'akulembeddemu okusaba okwetabiddwaako bannaddiini ab’enjawulo okubadde; Ssaabasumba w’essaza lya Kampala, Bp. Paul Ssemogerere ng’ono mutabani wa mugenzi, Fr Achiles Mayanja bwannamukulu w’e Lubaga n’abalala.

Abooluganda Mu Maziga.

Abooluganda Mu Maziga.

Nnamwandu Wa Dr. Paul Kawanga Ssemogerere Geremina Namatovu Ssemogerere Ng'ayogerako Eri Abakungubazi.

Nnamwandu Wa Dr. Paul Kawanga Ssemogerere Geremina Namatovu Ssemogerere Ng'ayogerako Eri Abakungubazi.

Omubaka Richard Ssebamala Ku Kkono, N'eyaliko Omubaka W'e Bukomansimbi Deogratious Kiyingi Owookubiri Ku Ddyo  Nabo Babaddeyo.

Omubaka Richard Ssebamala Ku Kkono, N'eyaliko Omubaka W'e Bukomansimbi Deogratious Kiyingi Owookubiri Ku Ddyo Nabo Babaddeyo.

Loodi Meeya Wa Kampla Erias Lukwago N'abakungubazi Abalala.

Loodi Meeya Wa Kampla Erias Lukwago N'abakungubazi Abalala.

Abakungubazi Omuli Ssentebe W'e Wakiso Matia Lwanga Bwanika Ewa Ssemogerere.

Abakungubazi Omuli Ssentebe W'e Wakiso Matia Lwanga Bwanika Ewa Ssemogerere.

Abooluganda Lw'omugenzi Kawanga Ssemogerere Mu Maziga Mu Makaage E Lubaga.

Abooluganda Lw'omugenzi Kawanga Ssemogerere Mu Maziga Mu Makaage E Lubaga.

Abakungubazi Mu Maka G'omugnezi Dr Paul Kawanga Ssemogerere E Lubaga

Abakungubazi Mu Maka G'omugnezi Dr Paul Kawanga Ssemogerere E Lubaga

Ssaabasumba Kasujja agambye nti, omugenzi  abadde muweereza wa Katonda omulungi, ayagala enyo eggwanga lye, eddiini ye n’ensi ye Uganda, abadde abirwanirira era nga mwenkanya mu buweereza bwe, aleze abantu abantu bangi naddala mu byobufuzi bangi abayise mu mikono gye.

Agambye nti, omugenzi abadde alina enteekateeka y'okusabira eggwanga mu makaage ku nkomerereo y’omwaka guno, wabula tekisobose, n’asaba  abakungubazi  okumusabira asobole okufuna ekiwummulo eky’emirembe .

Asaasidde  Ssaabasumba w’esssaza ekkulu erya Kampala Bp Paul Ssemogerere olw’okuviibwako kitaawe,  wamu ne Bannayuganda bonna olw’okuviibwako omuntu ow’amaanyi.

Loodi Meeya Erias Lukwago Ng'abuuza Kw'eyali Omumyuka Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi.

Loodi Meeya Erias Lukwago Ng'abuuza Kw'eyali Omumyuka Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi.

Namwandu Geremina Namatovu Ssemogerere, mu kwogerako eri abakungubazi agambye nti, Katonda yali yamuwa ekirabo ky’omwami we, ng’alinga ekikompe oba ekintu eky’omuwendo ennyo, nti atambudde naye emyaka 49 n’ekitundu mu bufumbo obutukuvu nga baabadde babulayo kitundu kya mwaka okujaguza emyaka 50 mu bufumbo.

Ssaabasumba w’essaza lya Kampala Bp. Paul Ssemogerere agambye nti, kitaabwe abadde  mpagi luwaga mu ffamire, abayigirizza  bingi mu nsi ne mu bulamu, era alese bonna baliko webatuuse, abadde musajja mukkiriza ng’amanyi Katonda.

Alwaniridde nnyo eggwanga lye mu mazima n’obwenkanya, abadde tawalana bantu ate nga tayomba.

Abadde ayagala nyo ensi ye, nga tasobola kwogera ne mumala  nga tayogedde ku kya kutereeza  ensi kuba kibadde tekimuva ku mumwa.

Okusaba kwetabiddwaako ebikonge ebyenjawulo okuva e Mmengo, mu Klezia ne mu gavumenti  ya wakati, bonna abatenderezza omugenzi okuzannya ebyobufuzi eby’emirembe.