Eklezia ejjukidde emyoyo gy’abagenzi

Juliet Anna Lukwago
Journalist @Bukedde
Nov 30, 2022

EKIBIINA kya Central Organising Committee (COC) ekiyamba mu kutegeka emikolo gy’Eklezia mu Kampala kijjukidde n’okusabira emyoyo gy’abannaabwe abatandika n’ebebakolanga nabo.

 Yiga ng’abuuza ku Ssaabasumba Paul Ssemogerere oluvannyuma lw’ekitambiro kya Mmisa

Yiga ng’abuuza ku Ssaabasumba Paul Ssemogerere oluvannyuma lw’ekitambiro kya Mmisa

Ekitambiro ky’e Mmisa kyakulembeddwa Ssaabasumba wa Kampala, Paul Ssemogerere ng’ayambibwako Vicar Genero we, Msgr Charles Kasibante, Bwanamukulu Fr Joseph Ssemanda, n’abalala ku Eklezia e Nsambya ku Mmande.

Mu bajjukiddwa mwe muli n’omwoyo gwa Ssaabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga eyali omuyima w’ekibiina, Msgr. Bonaventure Sserunkuuma eyatandika ekibiina, Msgr. Charles Kimbowa, Joseph Ssengooba, Charles Mbaziira, Ssempebwa, John Pool, Dr Josephine Mugoa, Pius Kawere, Sserubiri, Kawooya, Fr Peter Byangwa, abasaserodooti n’abantu n’abalala bangi.

Bwe yabadde ayigiriza, Ssaabasumba Ssemogerere yakubirizza Abakristu bulijjo okusabiranga emYoyo gy’abagenzi kubanga tewali kye baba beetaaga okuggyako essaala.

“Okufa ffenna tujja kugenda wabula kye tulina okukola kwe kusabira abaatusooka, ate nabo bwe baliba batuuse nabo nga batusabira,” Ssaabasumba Ssemogerere bwe yabakubirizza.

Msgr Charles Kasibante ng’akoleeza omusubbaawa okuva ku gwa Ssaabasumba Ssemogerere, okugitwala mu limbo e Nsambya.

Msgr Charles Kasibante ng’akoleeza omusubbaawa okuva ku gwa Ssaabasumba Ssemogerere, okugitwala mu limbo e Nsambya.

Oluvannyuma baagenze ku limbo e Nsambya okusabira abagenzi okuli n’omu ku baasooka mu kibiina Mbaziira, n’abalala. Ssaabasumba Ssemogerere yataddeko ekimuli ku kiggya kye ate abalala bonna ne babateekako emisubbaawa

Yee, Ssentebe w’ekibiina, Victor Kayongo yategegezezza nti okuva ekibiina kino bwe kyatandika nga kati kigenda kuweeza myaka 50 bammemba 80 Omukama yabayita dda.

Yategeezezza nti ekibiina kino kitegese emikolo egy’enjawulo, ng’ogwasooka gwali gwa myaka 25 egya Basista b’e Nkokonjeru mu 1978.

Ate nga tekyakoma bukomi kutegeka mikolo wabula nga baali basaale nnyo mu kuzimba enju y’abasaserodooti eyamenyebwawo e Namugongo. 

Ate omu ku bammemba abaasooka ono yali mmeeya wa Kampala, Christopher Yiga, yannyonnyodde entandikwa y’ekibiina n’agamba nti “mu kutandika twategeka omukolo gwa Basisita b’e Nkokonjeru mu 1972 oluvannyuma lw’okwekwanya kwanya ate oluvannyuma ekyavaamu ekibiina kya Central Organizing Committee (COC) ne kitandika mu 1978.

Abamu ku banene abeetabye mu kitambiro kya Missa kwabaddeko omubaka wa Kalungu East, Francis Katabaazi, Francis Lubowa, n’abeng’anda z’abagenzi bangi. 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});