Bya Lawrence Mukasa
Mmisa y’okusabira omwoyo gw’eyali omuyimbi w’ennyimba z’omukwano nnakinku, Moses Radio Ssekibogo mu maka ga maama we Jane Kasuubo ekulembeddwamu Rev. Fr. Francis Kituuma.

Entaana Ya Moze Radio
Omugenzi Moses Radio yafa nga February 1 mu 2018 bwe yakubwa kanyama w’ebbaala eyitibwa De Bar e Ntebe, ayitibwa Troy Wamala ekyamuviirako okufiira mu ddwaliro lya Case Hospital era nga leero lwe giweze emyaka etaano bukyanga afa.