Malaaya yeesomye okulemesa Trump okuddamu okwesimbawo

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde
Mar 20, 2023

NEW YORK, Amerika

AKALULU k’Obwapulezidenti wa Amerika katabuse malaaya bw’avuddeyo ne yeesoma okukalemesa Trump.

Ku Lwomukaaga eyali Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump yalaajanye n’akunga n’abawagizi be beekalakaase eggwanga lyonna ng’agamba nti bannabyabufuzi
b’asuubira okuttunka nabo mu kalulu ka 2024, be bali emabega w’ebimwogerwako nga banoonya okumusibya.

Trump ye yasoose okwekubira enduulu mu bawagizi be nti asuubirwa okukwatibwa enkya ku Lwokubiri ekyalese nga bangi tebamutegedde kubanga wadde ng’ebimunoonyerezebwako gyebiri, tewali yabadde akyogeddeko.

TRUMP ANOONYEREZEBWAKO KU BYEKUUSA KU BWAMALAAYA
Ekitali ku mawanga agamu, amawanga mangi mu bazungu kivve Pulezidenti, asuubirwa oba eyaliko n’ekitiibwa ekyo okwetaba mu bikolwa by’obwamalaaya.

Kati amawulire ga Guardian gagamba nti Trump yandiba ng’aliko engeri gye baamusenderangamu abakyala eyo mu 2006 nga n’ebyokwesimbawo mu kalulu ke
yawangula mu 2016 tekannabaawo.

Essaawa eno, ssaabawolereza wa Gavumenti mu ssaza ly’e New York, Trump gy’asinga okubeera gy’alina n’ebyobugagga ebingi, Alvin Bragg ayagala okunoonyereza okuzze kukolebwa ku Trump, kuwulirwe mu kkooti obujulizi bwe bubaawo obumala, avunaanibwe.

TRUMP YAKOLA KI
Waliwo omukyala ayitibwa Stormy Daniels ng’ono muzannyi wa firimu (wadde bye tuliko si bya firimu), agambibwa nti abayambi ba Trump (nga ne Trump akimanyiiko)
baamuwa ddoola 130,000 (mu za Uganda 480,302,420/-) mu kulonda kwa 2016 okwaleeta Trump mu buyinza, asirikire ebyama by’omukwano gwabwe ne Trump.

Kigambibwa nti Daniels yalina enkolagana ne Trump ey’enjawulo wadde omwami oyo yali mufumbo nti era kaabulakata ayasanguze ebyama kyokka singa aleeta bwino
essaawa eno nga Trump yeetegekera okwesimbawo mu 2024, kiba kimulya
ng’enjogera bw’eri.

Mu kunoonyereza okuliwo Trump kw’agamba nti kuzze mu kadde kano lwa byabufuzi nga battunka nabo baagala erinnya lye lyonooneke, Daniels yayogedde dda n’abakuli mu mitambo n’awaayo buli kimu ky’amanyi ng’omusango gusigadde kugenda mu kkooti era kisuubirwa nti Daniels ayinza okubeera omujulizi.

Ab’ekibiina kya Trump ekya Republicans bagenda mu kamyufu akagenda okusalawo akikwatira bendera era mu baasuubira okuttunka nabo mwe muli n’eyali omumyukawe,
Mike Pence.

Ku ludda olulala, ttiimu ya Trump esuubira nti aba DP kati abali mu buyinza, ye gwe batya mu bonna abasuubira okwesimbawo ku kamyufu ka Republican nga bandiba
nga be bali emabega w’okuleeta ebyayita nti ye bw’avaamu, aba DP baba
ng’abayitamu obuyisi mu 2024.

Trump yayise abawagizi be beekalakaase nga bawakanya okumukwata era nga bwe yakola mu January wa 2021 bwe yayita abawagizi be ne balumba Palamenti ya Amerika eya Capitol Hill okugezaako okukyusa ebyali bivudde mu kulonda okwaleeta Joe Biden mu buyinza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});