TOP

Abakazi babakutte babba amata

Added 1st October 2011

ABAKAZI ababadde batambulira mu mmotoka ya Prado bakwatiddwa lubona nga bapakidde emikebe gy’amata mu ngoye.

ABAKAZI ababadde batambulira mu mmotoka ya Prado bakwatiddwa lubona nga bapakidde emikebe gy’amata mu ngoye.

Bino byabaddewo ku ssaawa 6 ez’emisana ku Lwokuna mu Supermarket y’Abayindi eyitibwa Pride Supermarket  eriraanye bbanka ya Stanbic ku luguudo lwa William mu Kampala.

Abakazi bano baabadde batambulira  mu mmotoka y’ekika kya Prado UAH 753H ng’evugibwa Joseph Mwangi eyasigadde ku siteeringi beesozze Supermarket.

Ddereeva bwe yategedde nti abakyala bakwatiddwa yafunye mangu bodaboda n’adduka wabula ne bamusimbako ne bamukwata olwakalippaggano k’ebidduka akaabaddewo.

Abayindi okukwata abakyala bano kyaddiridde okulaba ku kamera zaabwe ng’abakyala bano abeefudde bakasitoma beepakira emikebe gy’amata ga Nani mu ngoye ne bakubira poliisi ya Arua Park essimu.

Abaakwatiddwa kuliko Eva Kihira Munene,Lucy Mwiti,Evelyn Kananu Muliki, Susan Kanyote,Susan Kanyeria, Ruth Mweri ne ddereeva Joseph Mwangi abagambibwa okubeera Bannakenya.

Abakazi babakutte babba amata

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...