“Tufunye ku buweerero olw’okugoba abatundira ku mbalaza z’amaduuka ne mu nguudo kyokka ate kati awaavudde abasuubuzi wasimbawo mmotoka okuva ku makya,†Nyenje bwe yategeezezza.
Nyenje yasabye Muky. Musisi asitukire mu kkampuni za bbaasi ezitikkira mu nguudo ku Arua paaka kubanga ebintu bye zitikka babiteeka mu bifo abatambuza ebigere we bayita ekikaluubiriza entambula yaabwe.
Bino Nyenje yabyogeredde mu ofiisi ye eri ku kizimbe kya Maria’s Galleria mu Kampala ku Lwokuna.
‘Emmotoka ezisimba ku mbalaza zigobwe’