Abantu abalala bana baavuddeyo ne bamulumiriza okubaggyako ssente okuli Adera Mbabazi era akola mu Owino gwe yaggyako 250,000/-, Ernest Kayiwa yamuggyako 300,000/- ,Haji Haruna Lubega yamuggyako 200,000/- okumufunira paasipooti y’omwana we ne Zalwango muka Safari yamuggyako ssente okumufunira omulimu.
Akulira poliisi eno, Patrick Mugasha yagambye nti baamugguddeko omusango ku fayiro nnamba SD:46/08/09/2011.
Balumiriza mutabani wa KAfumbe Mukasa okubafera