TOP

Tulagirizza ssukaali ebweru - Kyambadde

Added 13th September 2011

Okutuuka ku kino kiddiridde bbeeyi ya ssukaali okuddamu okulinnya nga kati buli musuubuzi amutunda bbeeyi gy’ayagala kyokka nga gavumenti esirise. Mu butale obw’enjawulo, ssukaali agula ssente eziri wakati wa 5,500/- ne 7,000/- buli kkiro era nti n’abamu batandise okumuvaako olw’obuseere.

Okutuuka ku kino kiddiridde bbeeyi ya ssukaali okuddamu okulinnya nga kati buli musuubuzi amutunda bbeeyi gy’ayagala kyokka nga gavumenti esirise. Mu butale obw’enjawulo, ssukaali agula ssente eziri wakati wa 5,500/- ne 7,000/- buli kkiro era nti n’abamu batandise okumuvaako olw’obuseere.

Ssukaali yeegattiddwaako emiwendo gy’amafuta nga kati petulooli agula wakati wa 3,900/- ne 4,100/-. Kino kirinnyisizza ebisale by’entambula mu takisi ne bbaasi.

Wabula Gavumenti evuddeyo n’egumya Bannayuganda nti obulumi abantu bwe balimu ebulaba era ensonga egikolako. Minisita alondoola ebyenfuna mu ggwanga, Henry Banyenzaki yagambye nti ekizibu kya ssukaali bakikolako kyokka waliwo amawulire ge bafuna nti abasuubuzi abamu be bakweka ssukaali.

Wabula abasuubuzi Dan Kiwanuka, Abdul Bazaale, Badru Kavulu, Adam Lubowa baasabye Gavumenti ekole ku miwendo gy’amafuta, enoonye abagagga abaamukweka kubanga ssukaali ku makolero gyali ate ne doola ekolebweko ekendeere naye embeera y’ebyenfuna ebalemeredde.

Tulagirizza ssukaali ebweru - Kyambadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu