TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Mukono basula ku tebuukye olw’embizzi n’enkima ebibazinze

Ab’e Mukono basula ku tebuukye olw’embizzi n’enkima ebibazinze

Added 9th August 2011

Bagamba nti oluvannyuma lw’okwokebwa omusana ogwakaza ebirime byabwe ebisinga, ate ebyasobola okusimattuka ekyeya, embizzi n’enkima zibiyiggayizza nga mu kisera kino ebisinga biweddewo nga tebamanyi kyakuliisa baana baabwe. Abalala bye batunuulidde ng’omuva ejjamba eribayimirizaako n’okuweer

Bagamba nti oluvannyuma lw’okwokebwa omusana ogwakaza ebirime byabwe ebisinga, ate ebyasobola okusimattuka ekyeya, embizzi n’enkima zibiyiggayizza nga mu kisera kino ebisinga biweddewo nga tebamanyi kyakuliisa baana baabwe. Abalala bye batunuulidde ng’omuva ejjamba eribayimirizaako n’okuweerera abaana.

Abatuuze basala amagezi ag’okuteeka obusa ku birime oluvannyuma lw’okukitegeera nti ekirime bw’okiteekako obusa tekirumbibwa nkima kyokka nga kino oluusi ebirime omuli ensunju buzivunza so nga zzo embizzi n’okuli obusa zibirya. Abalala amatooke agassizza bagambaza obudeeya wabula beemulugunya nti oluusi gengera nga ebamanyi.

Ssentebe w’omuluka gw’e Namagunga mu ggombolola y’e Naggojje, Matthias Musoke yagambye, “Obulamu bwaffe buli mu katyabaga: Tuyinza okukwatibwa obulwadde bwa Ebola olw’enkima ezeyongongedde. Abazadde abaana baabaggya dda ku by’okusoma, kati babasiibya mu bisenyi nga bakuuma nkima.”

Akulira ebyobulimi n’ebikolebwa mu disitulikiti y’e Mukono Dr. Fred Mukulu, yagambye nti enkima bategeka kuzigobesa masasi.

Ab’e Mukono basula ku tebuukye olw’embizzi n’enkima ebibazinze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...