Ku mukolo guno, Sheikh Obed Kamulegeya ye yasoose okwogera n’alaga obutali bumativu eri Gavumenti ya NRM gye yagambye nti eyitiridde okuseera Abasiraamu ebifo ku buli mulundi so nga baakola kinene okugireeta mu buyinza n’okugikuumiramu.
Kamulegeya yagambye nti yali Kigongo yennyini eyakola ekinene okukunga Abasiraamu  okubayingiza ensiko okuwagira    olutalo    nti naye okuva lwe baavaayo ye (Kigongo) bamukuumira ku bumyuka bwa Ssentebe wa NRM bwokka.
“Ssigamba nti mukwate emmundu mulwanyisa Gavumenti, kubanga twagala ebifo naye amazima gali nti batukasukira bigumba buli kiseera bye tuba tulya,†Sheikh Kamulegeya bwe yagambye ng’Abasiraamu bwe bamukubira emizira.
Kamulegeya yasabye Sheikh Rajab Kakooza okulomba edduwa ey’omutawaana (Kunuuti) era ne bakikola ng’Abasiraamu bawanise emikono mu bbanga kye yagambye nti baabadde baloopa eri Allah abakulembeze abanyigiriza Abasiraamu.
Ye Omulangira Kassim Nakibinge yakubirizza Abasiraamu okubeera obumu n’okunywerera ku nsonga yonna gye baba balaba nga y’esobola okutumbula Obusiraamu.
Nakibinge   yasabye   buli Musiraamu okubeera omugumu era alwanirire eddiini ye nga jjajjaawe omugenzi Nuuhu Mbogo bwe yakola.
Al - Haji Kigongo eyabadde omunyiivu olw’ebigambo bya Sheikh Kamulegeya bwe yasituse okwogera yagambye nti ebigambo bye (Kamulegeya) byabadde bikuma mu Basiraamu omuliro era baabadde tebasaana kubiwuliriza.
Kino kyatabudde Abasiraamu ne batandika okumung’oola nga bwe bamulangira obutayagala kuwulira mazima Kamulegeya gye yamubuulidde.
Kigongo yawalirizza n’agenda mu maaso n’okwogera ng’eno Abasiraamu bwe bamung’oola okutuusa lwe yavudde mu mbeera n’abagamba nti ye si muntu atiisibwatiisibwa ekintu ekyayongedde okubasaanuula ne boongera okuleekaanira waggulu okutuusa lwe yalekedde awo okwogera.
Al - Haji Kigongo agaanyi Abasiraamu okumutiisatiisa